2 Ekyebyomumirembe 22
22
Akaziya kabaka wa Yuda
(2 Bassek 8:25-29; 9:21,27-28)
1 #
2 Bassek 8:24-29
Awo abantu ab'omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu asingayo obuto, kabaka, kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n'atandika okufuga Yuda.#2 Byom 21:16,17 2Akaziya yali wa myaka ana mu ebiri (42) we yatandikira okufuga, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Asaliya, muwala wa Omuli.#2 Byom 21:6 3Era ne Akaziya n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamupikirizanga okukola obubi. 4N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza, kitaawe ng'amaze okufa. 5Era yagobereranga amagezi ge bamuwanga, n'agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, okulwanyisa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu. 6Awo Yolaamu n'akomawo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye baamufumitira e Laama, bwe yali ng'alwana ne Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu, kabaka wa Yuda n'agenda okulaba Yekolaamu mutabani wa Akabu, e Yezuleeri obulwadde. 7Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okuzikirira kwa Akaziya kulimutuukako ng'akyalidde Yolaamu: kubanga bwe yatuukayo ate n'agenda ne Yekolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.#2 Bassek 9:6,7,21 8Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Akabu, n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya abaali bawerekedde Akaziya, n'abatta.#2 Bassek 10:11-14 9N'alagira banoonye Akaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samaliya, ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta, ne bamuziika, kubanga baagamba nti, “Ye muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna.” Ennyumba ya Akaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuuka kabaka.#2 Bassek 9:27,28
Asaliya afuga Yuda
(2 Bassek 11:1-3)
10Awo Asaliya, nnyina Akaziya, bwe yalaba nga mutabani omwana we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza ennyumba yonna ey'obwakabaka bwa Yuda.#2 Bassek 11:3 11Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka, yali afumbiddwa Yekoyaada, kabona, n'atwala Yowaasi mu bubba, n'amuggya mu baana ba kabaka abali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bwatyo n'amuwonya okuttibwa Asaliya. 12Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama okumala emyaka mukaaga, nga Asaliya y'afuga ensi.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.