Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 19

19
1Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi. 2Awo nnabbi Yeeku, mutabani wa kanani, n'afuluma okusisinkana kabaka Yekosafaati, n'amugamba nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n'okolagana n'abo abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo Katonda akusunguwalidde.#2 Byom 16:7; 18:1-3; 20:34,37, Zab 139:21,22 3Naye mu ggwe mukyalimu ebirungi: kubanga waggyawo ebifaananyi bya Asera mu nsi yo, n'omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”#1 Bassek 14:13, 2 Byom 17:6, Ezer 7:10
4Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi. N'addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi y'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 5N'assaawo abalamuzi mu buli kibuga kya Yuda ekiriko ekigo ekigumu,#Ma 16:18 6n'agamba abalamuzi nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bwa bantu wabula ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango.#Ma 1:17 7Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Katonda waffe tagumikiriza kikyamya nsonga, newaankubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.” 8Mu Yerusaalemi Yekosafaati y'eteekamu Abaleevi ne bakabona n'abamu bakulu b'ennyumba mu Isiraeri, okulamulanga ku bwa Mukama. Babeeranga mu Yerusaalemi.#Ezer 7:25 9Awo n'abakuutira ng'agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama n'obwesigwa era n'omutima gumu.#2 Sam 23:3, 1 Bassek 8:61 10Baganda bammwe abali mu bibuga byabwe, bwe banaaleetanga gye muli emisango oba gy'abutemu oba gy'akumenya mateeka oba biragiro oba kusobya ebibalagirwa, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga abasunguwalira mmwe ne baganda bammwe abo. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.” 11Era, Amaliya kabona omukulu yanavunaanyizibwanga ku nsonga zonna eza Mukama, Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu mu kika kya Yuda yanavunaanyizibwanga ensonga zonna eza kabaka, n'Abaleevi banaaweerezanga nammwe. Mukole n'obuvumu era Mukama abeere n'abo abakola ebituufu.#1 Byom 6:11