2 Ekyebyomumirembe 18
18
Mikaaya alabula Akabu
(1 Bassek 22:1-28)
1Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga w'akitiibwa kingi nnyo nnyini, n'ateekateeka mutabani we awase muwala wa Akabu.#2 Byom 17:5; 21:6 2Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samaliya okulaba ku Akabu. Akabu n'amuteekerateekera ekijjulo eky'amaanyi, n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu be yagenda nabo, era n'amusendasenda balumbe Lamosugireyaadi.#1 Bassek 22:2-35 3Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi? ” Yekosafaati n'addamu nti, “Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo. Tujja ku kwegatako mu lutalo.” 4Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.” 5Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi, abasajja bina (400), n'ababuuza nti, “Tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? ” Ne baddamu nti, “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.” 6Naye Yekosafaati n'abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama mulala, tumwebuuzeeko?” 7Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti, “Waliwo omusajja omulala omu ayinza okutubuuliza Mukama: oyo ye Mikaaya, mutabani wa Imula, naye n'amukyawa; kubanga tandagulangako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n'agamba nti, “Kabaka, toyogera bw'otyo.” 8Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omukungu we, n'amugamba nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula, mubwangu.” 9Kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli muntu ku ntebe ye, mu gguliro, ku mulyango gwa wankaaki ogwa Samaliya. Bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe. 10Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana eyali yeeweesereza amayembe ag'ekyuma. n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, nti Olitomera Abasuuli na gano, okutuusa lwe balimalibwawo.” 11Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga bagamba nti, “Genda olumbe Yambuka Lamosugireyaadi okiwangule, kubanga Mukama ajja kukuwa obuwanguzi.” 12Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti, “Laba, ebigambo bya bannabbi abalala bonna bye babulidde kabaka ebirungi, nkwegayiridde, ekigambo kyo kibe ng'ebigambo byabwe, oyogere ebirungi.” 13Naye Mikaaya n'addamu nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaŋŋamba, ekyo kye nnaayogera.”#Kubal 24:13 14Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “Mikaaya, tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” Mikaaya n'addamu nti, “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula, Mukama ajja kubawa obuwanguzi.” 15Awo kabaka n'amugamba nti, “Naakulayiza emirundi emeka obutanimba, wabula okumbuulira amazima mu linnya lya Mukama?” 16Awo Mikaaya n'addamu nti, “Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'agamba nti, ‘ Abo tebalina mukama waabwe: buli muntu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’ ” 17Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti taalagule birungi ku nze wabula ebibi?” 18Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti, “Kale muwulire ekigambo kya Mukama, ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye, n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 19Mukama n'abuuza nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri alumbe Lamosugireyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri. 20Awo ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti, ‘Nze naamusendasenda.’ Mukama n'agubuuza nti, ‘Otya?’ 21Ne guddamu nti, ‘Nja kugenda mbeera omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’ Mukama n'agamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’ 22Kale nno, laba, Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano, era ggwe akwogeddeko bubi bwereere.” 23Awo Zeddekiya, mutabani wa Kenaana, n'asembera n'amukuba Mikaaya ku tama, n'amugamba nti, “Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?” 24Mikaaya n'amuddamu nti, “Ddala, ekyo olikiraba ku lunaku lw'oliyingira okwekweka mu kisenge eky'omunda.” 25Awo kabaka wa Isiraeri n'alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mu muzzeeyo ewa Amoni omukulu w'ekibuga ne wa Yowaasi mutabani wa kabaka. 26Mubagambe nti, ‘kabaka alagidde nti, Olusajja luno muluteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n'amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ” 27Awo Mikaaya n'agamba nti, “Bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti, “Muwulire, mmwe abantu mwenna, kye njogedde.”
Akabu attirwa e Lamosugireyaadi
(1 Bassek 22:9-35)
28Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne balumba Lamosugireyaadi. 29Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nnefudde, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” 30Kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge nti, “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.” 31Awo olwatuuka abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne bagamba nti, “Oyo ye kabaka wa Isiraeri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n'alaajana nnyo, Mukama n'amuyamba, Katonda n'abamuggyako. 32Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne balekerawo okumuwondera. 33Naye omusajja omu n'amala ganaanuula omutego ggwe, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti, “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa nnyo.” 34Awo olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo, kabaka wa Isiraeri ne yeewaliriza okusigala mu ggaali lye ng'atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.