1 Peetero 3
3
Abakazi n'abasajja abafumbo
1Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bawaangulwenga si lwa bigambo naye olw'empisa z'abakazi baabwe; #Bef 5:22, Tit 2:5 2kubanga bannalabanga empisa zammwe ennongoofu ez'okutya.#1 Peet 2:12 3Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye;#Is 3:18-24, 1 Tim 2:9 4naye omuntu ow'Omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 5Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini; 6nga Saala bwe yagondera Ibulayimu, ng'amuyita omwami. Kale nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.#Lub 18:12, Nge 3:25
7Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.#Bef 5:25
Okubonaabona olw'okukola ebituufu
8Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagala ab'oluganda, ab'ekisa, era abawombeefu.#Bar 12:16 9Temuwalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, mubeere abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.#Mat 5:44, 1 Bas 5:15, 1 Peet 2:23 10Kubanga,
“Ayagala obulamu,
N'okulaba ennaku ennungi,
Aziyizenga olulimi lwe mu bubi,
N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa.#Zab 34:12-16, Yak 1:26
11Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi;
Anoonyenga emirembe, agigobererenga.
12Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu,
N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe.
Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.”
13Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi? 14Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa. Temutyanga kutiisa kwabwe, era temweraliikiriranga;#Mat 5:10, 1 Peet 2:20, Is 8:12 15naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe, nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya.#Is 8:13, 1 Peet 1:3,13 16Mubeerenga n'omwoyo omulungi; bwe banabavumanga, abo ababoogerako obubi, olw'empisa zammwe ennungi mu Kristo balyoke bakwatibwenga ensonyi.#1 Peet 2:12 17Kubanga kye kisinga obulungi, okubonyaabonyezebwa olw'okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kwagala kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola obubi.#1 Peet 2:20-24 18Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;#Bar 6:10, Bef 2:18, Beb 9:28; 10:10 19era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera.#1 Peet 4:6 20Edda abataagonda, Katonda bwe yabagumiikiriza, mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyazimbibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana.#Lub 7:7,17 21Okubatiza okugerageranyizibwa n'amazzi gano kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'Omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,#Bef 5:26, Beb 10:22 22ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.#Bef 1:20,21, Zab 110:1, Bak 1:16
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.