Ves al contingut

1 Peetero 2

2
Okubeera eggwanga lya Katonda ettukuvu
1Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna.#Bef 4:22, Yak 1:21 2Ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku kulokoka. #1 Kol 3:2, Beb 5:12,13, Mat 18:3 3Kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama waffe. #Zab 34:8 4Mujje eri oyo ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi,#Zab 118:22, Is 28:16, Mat 21:42, Bik 4:11 5era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwamu ennyumba ey'Omwoyo mubeerenga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez'Omwoyo, ezisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.#Bef 2:21,22, Bar 12:1 6Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda,
eddonde, ery'omuwendo omungi;
Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.”#Is 28:16, Bar 9:33
7Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi, naye eri abatakkiriza,
“Ejjinja abazimbi lye baagaana,
eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;”#Zab 118:22, Mat 21:42
8era
“Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula.”#Is 8:14, Bar 9:33
Beesittala kubanga tebaagondera kigambo, nga bwe baali baateekeddwa okukola. 9Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky'ekitalo. #Is 43:20, Kuv 19:6, Bik 26:18, 2 Kol 4:6, Bef 5:8, Baf 2:15, Kub 1:6 10Edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda; abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.#Kos 1:6,9; 2:1,23, Bar 9:25
Okukolanga obulungi
11Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu.#Zab 39:12, Bag 5:17,24, Bef 2:19, Yak 4:1 12Munywezenga empisa zammwe ennungi mu b'amawanga, nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwalirabikirako.#Is 10:3, Mat 5:16, Yak 3:13
13Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe, oba kabaka nga ye asinga bonna;#Bar 13:1-7, Tit 3:1 14oba abaamasaza, kubanga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi. 15Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi.#1 Peet 3:16 16Mubeere ba ddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda.#Bag 5:13 17Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.#Bar 12:10, Nge 24:21, Mat 22:21
Ekyokulabirako Ky'okubonaabona Kwa Kristo
18Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe.#Bef 6:5, Tit 2:9 19Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga. 20Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? Naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.#1 Peet 3:14,17; 4:13,14, Mat 5:10 21Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.#Mat 16:24, Yok 13:15 22Ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke.#Is 53:9, Yok 8:46, 2 Kol 5:21 23Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga. 24Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.#1 Yok 3:5, Bar 6:11, Beb 9:28 25Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.#Is 53:5, Ez 34:5, Yok 10:11