1
Matayo 14:30-31
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.” Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?”
Compara
Explorar Matayo 14:30-31
2
Matayo 14:30
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.”
Explorar Matayo 14:30
3
Matayo 14:27
Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Muddemu omwoyo, nze nzuuno; temutya.”
Explorar Matayo 14:27
4
Matayo 14:28-29
Peetero n'amuddamu n'agamba nti, “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambulira ku mazzi.” Yesu n'agamba nti, “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu.
Explorar Matayo 14:28-29
5
Matayo 14:33
N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti, “Mazima oli Mwana wa Katonda.”
Explorar Matayo 14:33
6
Matayo 14:16-17
Naye Yesu n'abagamba nti, “Tewali kubeetaagisa kugenda; mmwe mubawe eby'okulya.” Ne bamugamba nti, “Tetulina kintu wano okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
Explorar Matayo 14:16-17
7
Matayo 14:18-19
Yesu n'agamba nti, “Mubindeetere wano.” N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira ebibiina.
Explorar Matayo 14:18-19
8
Matayo 14:20
Bonna ne balya, ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri.
Explorar Matayo 14:20