YOSWA 4
4
Okusimba amayinja ag'ekijjukizo
1Eggwanga lyonna bwe lyamala okusomoka Yorudaani, Mukama n'agamba Yoswa nti: 2“Mulonde mu bantu abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika, 3era mu balagire balonde amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, mu kifo wennyini bakabona mwe baayimiridde, bagatwale bagateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
4Awo Yoswa n'ayita abasajja ekkumi n'ababiri be yalonda mu Bayisirayeli, omu omu okuva mu buli kika, 5n'abagamba nti: “Mutambule mutuuke wakati mu Yorudaani awali Essanduuko ya Mukama, Katonda wammwe. Buli omu ku mmwe asitule ejjinja, alisse ku kibegabega kye, buli kika kya Yisirayeli ejjinja limu. 6Amayinja ago ganajjukizanga abantu, ekyo Mukama ky'akoze. Mu biseera ebigenda okujja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja ago kye gategeeza, 7munaabagambanga nti amazzi ga Yorudaani gavaawo ne gaviira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'eyita mu Yorudaani. Amayinja gano ganajjukizanga bulijjo Abayisirayeli ebyo ebibaddewo.”
8Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne balonda amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, limu limu erya buli kika kya Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ne bagatwala mu kifo mwe baasula, ne bagateeka eyo. 9Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu Yorudaani wakati, mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey'Endagaano mwe baayimirira. Amayinja ago gakyaliwo ne kaakano. 10Bakabona abaasitula Essanduuko baayimirira mu Yorudaani wakati, okutuusa byonna Mukama bye yalagira Yoswa okubuulira abantu lwe byatuukirira, nga Musa bwe yali alagidde Yoswa.
Abantu ne banguwako okusomoka. 11Awo abantu bonna bwe baamala okusomoka, bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano ne bakulemberamu abantu. 12Ab'omu Kika kya Rewubeeni n'ab'omu kya Gaadi, n'ab'ekimu ekyokubiri eky'ab'omu Kika kya Manasse ne bakulemberamu Abayisirayeli abalala, nga balina ebyokulwanyisa, nga Musa bwe yali abagambye. 13Abantu ng'emitwalo ena abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko. 14Mukama bye yakola ku lunaku olwo ne bireetera Abayisirayeli okumanya nga Yoswa muntu mukulu. Ne bamussangamu ekitiibwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, nga bwe baakissangamu Musa.
15Awo Mukama n'agamba Yoswa 16alagire bakabona abasitudde Essanduuko, bambuke bave mu Yorudaani. 17Awo Yoswa n'abalagira nti: “Mwambuke, muve mu Yorudaani.” 18Awo bakabona abaasitula Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe baayambuka ne bava mu Yorudaani, ne balinnya ku lukalu, amazzi gaagwo ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo, ng'edda.
19Abantu baasomoka Yorudaani ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'olubereberye, ne basula e Gilugaali mu buvanjuba bwa Yeriko. 20Eyo Yoswa gye yasimba amayinja ekkumi n'abiri ge baggya mu Yorudaani. 21N'agamba Abayisirayeli nti: “Mu biseera ebijja abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja gano kye gategeeza, 22munaabagambanga nti: ‘Abayisirayeli baasomoka Omugga Yorudaani guno nga mukalu.’ 23Munaabategeezanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yakaliza amazzi ga Yorudaani, okutuusa lwe mwamala okusomoka, nga bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu nga mugisomoka. 24Olwa kino, ab'amawanga gonna ku nsi balimanya obuyinza bwa Mukama nga bwe buli obw'amaanyi, era mulissaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.