Перайсці да зместу

YOSWA 3

3
Abayisirayeli basomoka Yorudaani
1Ku lunaku olwaddirira, Yoswa n'Abayisirayeli baakeera mu makya, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yorudaani, ne basiisira awo nga tebannasomoka. 2Bwe waayitawo ennaku ssatu, abakulembeze ne bayitaayita mu lusiisira, 3ne bagamba abantu nti: “Bwe munaalaba Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, Katonda wammwe, nga bakabona Abaleevi bagyetisse, ne mulyoka muva mu bifo byammwe, ne mugigoberera, 4mulyoke mumanye ekkubo lye mugwanidde okukwata, kubanga ekkubo lino mubadde temuliyitangamu. Naye Essanduuko ey'Endagaano temugisemberera. Munaalekawo ebbanga lya kilomita ng'emu wakati wammwe nayo.”
5Yoswa n'agamba abantu nti: “Mwetukuze, kubanga enkya, Mukama ajja kukola ebyamagero mu mmwe.” 6Awo n'agamba bakabona nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, mukulemberemu abantu.” Ne bagisitula, ne bakulemberamu.
7Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kye nnaakola olwaleero, kinaaleetera Abayisirayeli bonna okutandika okukussaamu ekitiibwa, n'okukumanya nga ndi naawe, nga bwe nali ne Musa. 8Lagira bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano nti bwe batuuka mu mazzi g'Omugga Yorudaani, basigale nga bagayimiriddemu.”
9Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mujje wano muwulire Mukama, Katonda wammwe by'agamba. 10Ku kino kwe munaategeerera nga Katonda Nnnannyinibulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba Bakanaani na Bahiiti na Bahiivi na Baperezi, na Bagirugaasi, na Baamori, na Bayebusi mmwe nga mulaba. 11Mulabe, Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama w'ensi zonna ebakulembeddemu okusomoka Yorudaani. 12Kale kaakano mulonde abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika kya Yisirayeli. 13Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama bwe banaalinnya mu mazzi, Omugga Yorudaani gujja kulekera awo okukulukuta, amazzi agava engulu, geetuume wamu entuumu.”
14Abantu bwe baava mu weema zaabwe okusomoka Yorudaani, bakabona ne babakulemberamu nga basitudde Essanduuko ey'Endagaano. 15Bakabona abo abasitudde Essanduuko bwe baatuuka ku Yorudaani, ne balinnya mu mazzi gaagwo agaali gaaladde ku mbalama zaagwo zonna mu biseera byonna ebyo eby'amakungula, 16amazzi agava engulu ne galekera awo okukulukuta, ne geetuuma wamu entuumu, ebbanga ddene, okuviira ddala ku Adamu ekibuga ekiriraanye Zaretaani. Ago agakkirira ku Nnyanja ey'e Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera okumpi ne Yeriko. 17Abayisirayeli bonna ne bayita awakalu, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano bayimiridde awakalu wakati mu Mugga Yorudaani, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyamala okusomoka.