Makko 9

9
Okufuusibwa kwa Yesu ku lusozi
(Mat 16:28—17:3, Luk 9:27-36)
1Awo Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti, Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.”
2Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.#Mat 17:1-13, Luk 9:28-36 3Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo. 4Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu. 5Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti, “Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.” 6Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali battidde nnyo. 7Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.”#Mak 1:11, 2 Peet 1:17, Ma 18:15, Bik 3:22 8Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tebalaba muntu mulala wabula Yesu yekka nabo.
9Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu.#Mak 8:30 10Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti, “Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?” 11Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Abawandiisi boogera nti, kigwana Eriya okusooka okujja.” 12N'abagamba nti, “ Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?#Mal 4:5, Is 53:3 13Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.”#Mat 11:14, 1 Bassek 19:2
Yesu awonya omulenzi eyaliko dayimooni
(Mat 17:14-21, Luk 9:37-42)
14Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka. 15Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne badduka ne bajja gy'ali ne bamulamusa. 16N'ababuuza nti, “Mubasokaasoka lwaki?” 17Omu mu kibiina n'amuddamu nti, “Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera; 18buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.” 19N'abaddamu, n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere.” 20Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangwago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu. 21N'abuuza kitaawe nti, “ Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki?” N'agamba nti, “ Okuviira ddala mu buto. 22Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.” 23Yesu n'amugamba nti, “Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.”#Mak 11:23 24Amangwago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “ Nzikirizza saasira obutakkiriza bwange.”#Luk 17:5 25Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kijja kidduka, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti, “ Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.” 26Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti, “ Afudde.”#Mak 1:26 27Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira. 28Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti, “ Lwaki ffe tetwayinzizza kumugoba?” 29N'abagamba nti, “Engeri eno teyinzika kugenda nakirala awatali kusaba na kusiiba.”
Yesu ayongera okwogera ku kufa kwe
(Mat 17:22,23, Luk 9:43-45)
30 # Mat 17:22,23, Luk 9:43-45 Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera.#Yok 7:1 31Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be nga abagamba nti, “ Omwana w'omuntu aliweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.”#Mak 8:31; 10:32-34 32Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza.#Luk 9:45; 18:34
Okubeera omuweereza
(Mat 18:1-5, Luk 9:46-50)
33 # Mat 18:1-9, Luk 9:46-50 Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti, “Mubadde muwakana ki mu kkubo?”#Mat 17:24 34Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti, “ani omukulu.” 35N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.”#Mak 10:44 36N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti,#Mak 10:16 37“Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.”#Mat 10:40, Yok 13:20
38Awo Yokaana n'amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo ne tumugaana, kubanga yali tayita naffe.”#Kubal 11:27,28 39Naye Yesu n'agamba nti, “ temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangwago n'anvuma. 40Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.#Mat 12:30 41Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.#Mat 10:42 42Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja. 43Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;#Mat 5:30 44envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. 45N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi; 46envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. 47N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;#Mat 5:29 48envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira.#Is 66:24 49Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro.#Leev 2:13 50Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.”#Mat 5:13, Luk 14:34, Bak 4:6

Айни замон обунашуда:

Makko 9: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy