Makko 10

10
Yesu ayogera ku bukulu bw'obufumbo mu nteekateeka ya Katonda
(Mat 19:1-9)
1 # Mat 19:1-9 Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu kitundu kye Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate;#Mak 9:33 nga empisa ye bwe yali n'abayigiriza. 2Awo Abafalisaayo olw'okwagala okumugezesa, ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti, “Kirungi omuntu okugobanga mukazi we?” 3Naye n'addamu n'abagamba nti, “Musa yabalagira atya?” 4Ne bagamba nti, “Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba, alyoke agobebwenga.”#Ma 24:1, Mat 5:31,32 5Naye Yesu n'abagamba nti, “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi.#Lub 1:27 7Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we;#Lub 2:24 8nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu. 9Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.” 10Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo. 11N'abagamba nti, “Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, nga azizza omusango ogw'obwenzi ku mukyala we;#Luk 16:18 12naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.”
Yesu awa abaana abato omukisa
(Mat 19:13-15, Luk 18:15-17)
13Awo ne bamuleetera abaana abato, abakwateko; naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta.#Mat 19:13-15, Luk 18:15-17 14Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. 15Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.”#Mat 18:3 16N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono.
Yesu ayogera ku kusikira obulamu obutaggwaawo
(Mat 19:16-22, Luk 18:18-23)
17Awo bwe yali anaatera okugenda, omusajja najja ng'adduka, n'afukamira wali, n'amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, n'akola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?”#Mat 19:16-30, Luk 18:18-30 18Yesu n'amugamba nti, “Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 19Omanyi amateeka, ‘Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.’ ”#Kuv 20:12-17, Ma 5:16-20; 24:14 20N'amugamba nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange.” 21Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti, “oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”#Mak 8:34, Mat 10:38 22Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.
Yesu ayogera ku buzibu bw'obugagga
(Mat 19:23-26, Luk 18:24-27)
23Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti, “ Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” 24Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti, “Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!#Zab 62:10, 1 Tim 6:17 25Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 26Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti, “Kale ani ayinza okulokoka?” 27Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti, “ Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.”#Lub 18:14, Yob 42:2
Omugabo ogutaggwaawo
(Mat 19:27-30, Luk 18:28-30)
28Awo Peetero n'atandika okumugamba nti, “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera.” 29Yesu n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti, Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'Enjiri, 30ataliweebwa emirundi kikumi (100) mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo. 31Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”
Yesu ayogera ku kuttibwa kwe
(Mat 20:17-19, Luk 18:31-34)
32 # Mat 20:17-19 Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya. Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri (12), n'atandika okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako,#Mat 20:17-19, Luk 18:31-34 33nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga, 34balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta, bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.”
Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana
(Mat 20:20-28)
35Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.”#Mat 20:20-28 36N'abagamba nti, “ Mwagala mbakolere ki?” 37Ne bamugamba nti, “Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo.” 38Naye Yesu n'abagamba nti, “ Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? Oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze?”#Mak 14:36, Luk 12:50, Bar 6:3 39Ne bamugamba nti, “ Tuyinza.” Yesu n'abagamba nti, “Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa;#Bik 12:2, Kub 1:9 40naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.” 41Awo ekkumi (10) bwe baawulira, ne batandika okusunguwalira Yakobo ne Yokaana. 42Yesu n'abayita, n'abagamba nti, “ Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka.#Luk 22:25-27 43Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;#Mak 9:35 44na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna. 45Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”
Yesu azibula Battimayo omuzibe w'amaaso
(Mat 20:29-34, Luk 18:35-43)
46Awo ne batuuka e Yeriko bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Battimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo.#Mat 20:29-34, Luk 18:35-43 47Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atandika okwogerera waggulu n'okugamba nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire.” 48Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Omwana wa Dawudi, onsaasire.” 49Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti, “ Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti, “ Guma omwoyo; golokoka, akuyita.” 50Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu. 51Yesu n'amuddamu, n'agamba nti, “ Oyagala nkukole ntya?” Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti, “Labooni, njagala nzibule.” 52Awo Yesu n'amugamba nti, “ Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” amangwago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.

Айни замон обунашуда:

Makko 10: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy