Makko 8

8
Yesu aliisa abantu enkumi ennya
(Mat 15:32-38)
1Awo mu nnaku ezo, ekibiina ne bwe kyakuŋŋaana, ne bataba na mmere ya kulya, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti, #Mat 15:32-39 2“Nsaasira ekibiina, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, era tebalina kya kulya;#Mak 6:34-44 3bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe nga tebalidde, bajja kuzirikira mu kkubo, ate ng'abamu ku bo baava wala.” 4Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu?” 5N'ababuuza nti, “ Mulina emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.” 6Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi. N'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyaamenyaamu, n'awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina. 7Era baali balina obw'ennyanja butono, nabwo n'abwebaza, n'alagira n'abwo okubussa mu maaso gaabwe. 8Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu.#Ma 28:5 9Baali ng'enkumi nnya (4,000) n'abasiibula. 10Amangwago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja mu kitundu ky'e Dalumanusa.
Abafalisaayo basaba Yesu akabonero akava mu ggulu
(Mat 15:39—16:4)
11 # Mat 16:1-12 Abafalisaayo ne bajja gy'ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.#Yok 6:30 12Yesu n'assa ekikkowe, n'agamba nti, “Ab'Emirembe gino banoonyeza ki akabonero? Mazima mbagamba nti, ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.” 13N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda ku ludda olulala olw'ennyanja.
Yesu ayogera ku kizimbulukusa ky'Abafalisaayo n'ekya Kerode
(Mat 16:5-12)
14Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato. 15N'abakuutira ng'agamba nti, “ Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'ekizimbulukusa kya Kerode.”#Luk 12:1, Mak 3:6 16Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Tetulina migaati.” 17Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? Temunnalaba, so temutegeera? Emitima gyammwe mikakanyavu?#Mak 6:52 18Mulina amaaso, temulaba? Mulina amatu, temuwulira? So temujjukira?#Yer 5:21, Ez 12:2 19Bwe nnamenyera enkumi ettaano (5,000) emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bwe mwakuŋŋaanya?” Ne bamugamba nti, “Kkumi na bibiri (12).”#Mak 6:41-44 20“Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya (4,000), mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka?” Ne bamugamba nti, “Musanvu.”#Mak 8:6-9 21N'abagamba nti, “Temunnategeera?”
Yesu awonya omuzibe w'amaaso e Besusayida
22Awo ne bajja e Besusayida. Ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.#Mak 6:56 23N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru we kibuga. Awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti, “Oliko ky'olaba?”#Mak 7:32,33, Yok 9:6 24N'atunula waggulu n'agamba nti, “Ndaba abantu, kyokka bafaanana ng'emiti, nga batambula.” 25Era nate Yesu n'ayongera okukwata ku maaso g'omusajja, omusajja n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi. 26Yesu n'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti, “Togezaako kuyingira mu kyalo.”#Mak 7:36; 8:27—9:1, Mat 16:13-28, Luk 9:18-27
Omulimu gwa Yesu ogwasembayo mu Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa, okufa n'okuzuukira kwe
(8:27—16:8)
Yesu agenda e Yerusaalemi
(8:27—10:52)
Yesu ayogera ku kubonyaabonyezebwa kwe
27Awo Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu bampita ani?” 28Ne bamugamba nti, “Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.” 29Ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Kristo.”#Yok 6:67-69 30Yesu n'abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna.#Mak 9:9 31Awo Yesu n'atandika okubabuulira nti, kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira. 32N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amuzza wabbali n'atandika okumunneya. 33Yesu bwe yakyuka n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti, “Dda emabega wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”
Yesu ayogera ku kumugoberera
(Mat 16:24-27, Luk 9:22-26)
34N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. 35Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'Enjiri alibulokola.#Mat 10:39 36Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe? 37Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe? 38Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”#Mat 10:33

Айни замон обунашуда:

Makko 8: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy