1
Makko 10:45
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”
Муқоиса
Makko 10:45 омӯзед
2
Makko 10:27
Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti, “ Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.”
Makko 10:27 омӯзед
3
Makko 10:52
Awo Yesu n'amugamba nti, “ Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” amangwago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.
Makko 10:52 омӯзед
4
Makko 10:9
Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
Makko 10:9 омӯзед
5
Makko 10:21
Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti, “oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”
Makko 10:21 омӯзед
6
Makko 10:51
Yesu n'amuddamu, n'agamba nti, “ Oyagala nkukole ntya?” Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti, “Labooni, njagala nzibule.”
Makko 10:51 омӯзед
7
Makko 10:43
Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe
Makko 10:43 омӯзед
8
Makko 10:15
Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.”
Makko 10:15 омӯзед
9
Makko 10:31
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”
Makko 10:31 омӯзед
10
Makko 10:6-8
Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu.
Makko 10:6-8 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео