Makko 11

11
Yesu ayingira Yerusaalemi mu kitiibwa
(Mat 21:1-11, Luk 19:29-40)
1Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,#Mat 21:1-9, Luk 19:29-38, Yok 12:12-16 2n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangwago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete. 3Omuntu bw'abagamba nti, ‘Mukola ki ekyo?’ mugamba nti, ‘Mukama waffe ye agwetaaga;’ amangwago anaaguweereza eno.” #Mak 14:14 4Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula. 5Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti, “ Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?” 6Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka. 7Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala. 8Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro. 9Abaali bakulembedde n'abaali bava emabega ne boogerera waggulu nti, “ Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:#Zab 118:25,26 10Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajjaffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.”
11N'atuuka mu Yerusaalemi n'ayingira mu Yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri (12).#Mat 21:12-22, Luk 19:45-48
Yesu akolimira omutiini
(Mat 21:18,19)
12Awo enkeera, bwe baali bavudde e Bessaniya n'alumwa enjala. 13Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala, n'agutuukako, alabe oba nga anaasangako ekibala kyonna, awo bwe yagutuukako, n'atalabako bibala wabula amalagala; kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.#Luk 3:9; 13:6-9 14N'addamu n'agugamba nti, “Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo.” Abayigirizwa be ne bawulira.#Mak 11:20
Yesu alongoosa Yeekaalu
(Mat 21:12,13, Luk 19:45,46)
15Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu Yeekaalu, n'atandika okugobamu abaali batunda n'abagulira mu Yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;#Yok 2:14-16 16n'ataganya muntu okuyisa ekintu kyonna mu Yeekaalu. 17N'ayigiriza, n'abagamba nti, “ Tekyawandiikibwa nti, ‘ Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna?’ Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”#Is 56:7, Yer 7:11 18Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
Omutiini ogukaze
(Mat 21:20-22)
20Awo enkeera ku makya, bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.#Mak 11:14 21Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti, “Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.” 22Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mube n'okukkiriza mu Katonda.#Yok 14:1 23Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti, ‘ Sigulibwa, osuulibwe mu nnyanja;’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiriza nga ky'ayogera kikolebwa, alikiweebwa.#Mat 17:20, Luk 17:6 24Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize nga mubiweereddwa, era mulibifuna#Mat 7:7, Yok 14:13; 16:23 25Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe.#Mat 5:23 26Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.”#Mat 6:14,15
Yesu abuuzibwa gyaggya obuyinza
(Mat 21:23-27, Luk 20:1-8)
27Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu Yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde;#Mat 21:23-27, Luk 20:1-8 28ne bamugamba nti, “ Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?” 29Awo Yesu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaababuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino. 30Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? Munziremu.” 31Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu;’ anaagamba nti, ‘ Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’ 32Naye tugambe nti, ‘Kwava mu bantu? ’ ” Baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi. 33Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti, “ Tetumanyi.” Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.”

Айни замон обунашуда:

Makko 11: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy