Matayo 28

28
Eby'okuzuukira kwa Yesu
(28:1-20)
Malyamu Magudaleene ne banne bakeera ku ntaana
(Mak 16:1-10, Luk 24:1-12, Yok 20:1-10)
1Awo olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu omulala ne bagenda okulaba entaana.#Mak 16:1-10, Luk 24:1-10, Yok 20:1-18 2Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja n'aliggyawo, era n'alituulako. 3Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira.#Mat 17:2, Bik 1:10 4era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. 5Naye malayika n'agamba abakazi nti, “Mmwe temutya; kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. 6Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo we yagalamizibwa. #Mat 12:40; 16:21; 17:23; 20:19, Bik 2:36 7Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; eyo gye mulimulabira, laba, mbabuulidde.”#Mat 26:32 8Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa naye nga balina essanyu lingi, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. 9Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti, “Mirembe.” Ne bajja ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. 10Awo Yesu n'abagamba nti, “Temutya, mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.”#Beb 2:11, Lub 45:4; 50:19
Abasserikale bagulirirwa okukisa okuzuukira kwa Yesu
11Abakazi bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddewo. 12Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne bawa abasserikale effeeza nnyingi, 13ne babagamba nti, “Mugambanga nti, ‘Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.’#Mat 27:64 14Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa owessaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.” 15Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba; ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, n'okutuusa leero.
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Mak 16:14-18, Luk 24:36-49, Yok 20:19-23, Bik 1:6-8)
16Awo abayigirizwa ekkumi n'omu (11) ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabalagira.#Mat 28:7 17Bwe baamulaba ne bamusinza; naye abalala ne babuusabuusa. 18Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.#Mat 11:27, Bef 1:20-22, Dan 7:14 19Kale mugende, mufuule abantu b'amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;#Mak 16:15,16 20nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe. Era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”#Mat 18:20, Yok 14:23

Айни замон обунашуда:

Matayo 28: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy