Matayo 27

27
Yesu atwalibwa ewa Piraato
(Mak 15:1, Luk 23:1-2, Yok 18:28-32)
1Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateeseeza wamu ku by'okutta Yesu;#Mak 15:1, Luk 22:66, Yok 18:28 2ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato owessaza.#Luk 23:1, Yok 18:31,32
Okufa kwa Yuda
(Bik 1:18-19)
3Awo Yuda, eyalya mu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo asatu (30) ebya ffeeza,#Mat 26:15 4nga bw'agamba nti, “Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi.” Naye bo ne bamugamba nti, “Guno guli ku ffe? Musango gwo.” 5Effeeza n'azisuula mu Yeekaalu, n'afuluma, n'agenda yeetuga.#Bik 1:18, 2 Sam 17:23 6Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.”#Mak 12:41 7Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw'omubumbi, okuziikangamu abagenyi. 8Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano.#Bik 1:19 9Awo n'ekituukirira ekyayogerwa nnabbi Yeremiya ng'agamba nti, “Ne batwala ebitundu ebya ffeeza asatu (30), omuwendo abantu abamu ku baana ba Isiraeri gwe baamulamulamu;#Zek 11:12,13, Yer 32:6-9 10ne babigulamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.”
Piraato abuuza Yesu ebibuuzo
(Mak 15:2-5, Luk 23:3-5, Yok 18:33-38)
11Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'owessaza; owessaza n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “Oyogedde.”#Mak 15:2-5, Luk 23:2,3, Yok 18:29-38 12Wadde Bakabona abakulu n'abakadde baamuloopa, naye ye n'ataddamu n'akatono.#Mat 26:23, Is 53:7 13Awo Piraato n'amugamba nti, “Towulira bigambo bino byonna bye bakulumiriza bwe biri?” 14Naye Yesu teyamuddamu na kigambo na kimu; owessaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.#Yok 19:9
Yesu asalirwa ogw'okuttibwa
(Mak 15:6-15, Luk 23:13-25, Yok 18:39—19:16)
15Naye ku mbaga ejjukirirwako Okuyitako, ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.#Mak 15:6-15, Luk 23:13-25, Yok 18:39—19:1 16Era mu biro ebyo baalina omusibe eyali amanyiddwa ennyo ayitibwa Balaba. 17Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti, “Aluwa gwe mwagala mbasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?” 18Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya.#Yok 11:47,48; 12:19 19Naye bwe yatuula ku ntebe esaalirwako emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti, “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi n'akatono, kubanga olwaleero nnalumiddwa bingi mu kirooto ku lulwe.” 20Naye bakabona abakulu n'abakadde ne bafukuutirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu. 21Naye owessaza n'addamu n'ababuuza nti, “Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mbasumululire?” Ne baddamu nti, “Balaba.” 22Piraato n'abagamba nti, “Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?” Bonna ne baddamu nti, “Akomererwe.” 23Piraato n'ababuuza nti, “Lwaki? Ekibi ky'akoze kiruwa?” Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti, “Akomererwe.” 24Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti, “Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu; musango gwammwe.”#Ma 21:6 25Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe.”#Bik 5:28 26Awo Piraato n'abasumululira Balaba, naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.
Abasserikale bakudaalira Yesu
(Mak 15:16-20, Yok 19:2-3)
27Awo basserikale b'owessaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna.#Mak 15:16-19, Yok 19:2,3 28Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu. 29Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, ne bamukwasa n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” 30Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe.#Is 50:6 31Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye luli olumyufu, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera.#Mak 15:20-24, Luk 23:26,33-49, Yok 19:16-30
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Mak 15:21-32, Luk 23:26-43, Yok 19:17-27)
32Awo bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukuleene, erinnya lye Simooni; ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwa Yesu. 33Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga, 34ne bawa Yesu omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa; naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa.#Zab 69:21 35Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu;#Zab 22:18 36ne batuula awo ne bamukuuma. 37Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.” 38Awo abanyazi babiri (2) ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.#Is 53:12 39N'abantu abaali bayitawo ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe,#Zab 22:7; 109:25 40nga bagamba nti, “Ggwe amenya Yeekaalu, n'ogizimbira ennaku essatu (3), weerokole! oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.”#Mat 26:61, Yok 2:19 41Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti, 42“ Yalokolanga balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.” 43“Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”#Zab 22:8, Is 53:9 44Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
Okufa kwa Yesu
(Mak 15:33-41, Luk 23:44-49, Yok 19:28-30)
45Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda. 46Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti, “Eri, Eri, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”#Zab 22:1 47Abamu ku baali bayimiridde awo, bwe baawulira, ne bagamba nti, “Omusajja ono ayita Eriya.” 48Amangwago munnaabwe omu n'adduka, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.#Zab 69:21 49Naye abalala ne bagamba nti, “Leka tulabe oba nga Eriya anajja okumulokola.” 50Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe. 51Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika;#Kuv 26:31, Beb 10:19,20 52entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;#Dan 12:2 53ne bava mu ntaana. Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne ba balaba.#Bik 26:23 54Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti, “Mazima ono abadde Mwana wa Katonda!” 55Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, era abaamuweerezanga abaayimirira ewalako nga balengera;#Luk 8:2,3 56mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.#Mat 20:20
Okuziikibwa kwa Yesu
(Mak 15:42-47, Luk 23:50-56, Yok 19:38-42)
57Naye obudde bwali buwungeera, omusajja omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu najja, era naye yali muyigirizwa wa Yesu.#Mak 15:42-47, Luk 23:50-55, Yok 19:38-42 58Oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.#Kuv 34:25 59Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru, 60n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi; n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.#Is 53:9 61Malyamu Magudaleene, ne Malyamu omulala, baali nga batudde awo mu maaso g'entaana.
Abakuumi bateekebwa ku ntaana
62Naye enkeera, lwe lunaku olwaddirira olw'okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato, 63ne bagamba nti, “Omwami, tujjukidde omulimba oyo ng'akyali mulamu, yagamba nti, ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.’#Mat 27:40; 12:40 64Kale nno lagira bakuumire ddala entaana okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu, bagambe abantu nti, ‘Azuukidde mu bafu,’ era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.” 65Piraato n'abagamba nti, “Mulina abakuumi; mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.” 66Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.#Dan 6:17

Айни замон обунашуда:

Matayo 27: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy