Lukka 19

19
Yesu asisinkana Zaakayo
1Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko n'aba ng'akiyitamu. 2Kale, laba, waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo, eyali omukulu w'abawooza, era nga mugagga. 3N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi. 4N'adduka n'abakulembera n'alinnya ku muti omusukomooli alabe Yesu: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo.
5Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.” 6N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka. 7Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza, nga bagamba nti, “ Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.”#Luk 15:2 8Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti, “ Mukama wange, laba ekitundu ky'ebintu byange nkiwa abaavu; era oba nga waliwo omuntu yenna gwe nnalyazaamaanya ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.”#Kuv 22:1, Kubal 5:6,7 9Yesu n'amugamba nti, “ Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu.#Luk 13:16, Bik 3:25; 16:31 10Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.” #Ez 34:16, Yok 3:17, Luk 5:32, 1 Tim 1:15
Olugero lw'abaddu abaweebwa siringi bibiri
(Mat 25:14-30)
11Awo bwe baawulira ebyo, Yesu ne yeeyongera n'abagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangwago.#Luk 24:21, Bik 1:6 12Kyeyava agamba nti, “ Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo.#Mak 13:34 13N'ayita abaddu be kkumi (10), n'abawa siringi bibiri (200), n'abagamba nti Musuubuzenga ensimbi zino okutuusa we ndijjira. 14Naye abasajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti, ‘Tetwagala oyo kutufuga.’#Yok 1:11 15Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, alyoke amanye amagoba ge bafuna. 16Ow'olubereberye n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zewampa zaakola amagoba ga siringi bibiri (200).’ 17N'amugamba nti, ‘Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale on'oba n'obuyinza okufuga ebibuga kkumi (10).’#Luk 16:10 18Ow'okubiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zaakola amagoba ga siringi kikumi (100).’ 19N'oyo n'amugamba nti, ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’ 20N'omulala n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, laba, siringi zo zino abiri (20) nnazisiba mu kiwero nnenzitereka: 21Kubanga nnakutya kubanga oli muntu mukakanyavu: olonda ky'otaateekawo, okungula ky'otaasiga.’ 22N'amugamba nti, ‘ Akamwa ko ke kanaakunsaliza omusango, ggwe omuddu omubi. Wali omanyi nga ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga; 23kale kiki ekyakulobera okuwa siringi zange abasuubuzi, nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo?’ 24N'agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko siringi ze, muziwe oyo alina siringi ebibiri (200).’ 25Ne bamugamba nti, ‘ Mukama waffe, alina siringi bibiri (200).’ 26Mbagamba nti, ‘Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo kyali nakyo kirimuggibwako.#Luk 8:18, Mat 13:12 27Naye abo abalabe bange abatayagala nze kubafuga, mubaleete wano mu batte nga ndaba.’” 28Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulembera n'ayambuka e Yerusaalemi.
Olugendo lwa Yesu olwasembayo mu Yerusaalemi
(19:29—21:38)
Yesu ayingira mu Yerusaalemi n'ekitiibwa
(Mat 21:1-11, Mak 11:1-11, Yok 12:12-19)
29Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma babiri ku bayigirizwa be,#Mat 21:1-9, Mak 11:1-10, Yok 12:12-16 30ng'abagamba nti, “Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete. 31Era omuntu bw'ababuuza nti, ‘Mugusumululira ki?’ Mumugambe bwe muti nti, ‘ Mukama waffe ye agwetaaga.’” 32N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba. 33Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi, bannannyini gwo ne babagamba nti, “Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?” 34Ne bagamba nti, “Mukama waffe ye agwetaaga.”
35Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliirira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu. 36Awo yali ng'agenda, abantu ne baaliirira engoye zaabwe mu luguudo.#2 Bassek 9:13 37Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba; 38nga bagamba nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe waggulu ennyo.”#Zab 118:26, Luk 2:14 39Abafalisaayo abamu abaali mu kibiina ky'abantu ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” 40Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja amangwago ganaayogerera waggulu.”
Yesu akaabira Yerusaalemi
41Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira,#2 Bassek 8:11, Yok 11:35 42ng'agamba nti, “Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. #Ma 32:29, Mat 13:14, Yok 12:38 43Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna, 44balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.”#Luk 21:6, Zab 137:9
Yesu mu Yeekaalu
(Mat 21:12-17, Mak 11:15-19, Yok 2:13-22)
45N'ayingira mu Yeekaalu, n'agobamu abaali batundiramu#Mat 21:12-16, Mat 11:15-18, Yok 2:13-16 46ng'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”#Is 56:7, Yer 7:11
47Awo n'ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza:#Luk 21:37; 22:53, Yok 18:20 48ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira.

Айни замон обунашуда:

Lukka 19: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy