Lukka 18

18
Olugero lwa nnamwandu n'omulamuzi
1Yesu n'abagerera olugero, bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga;#Bar 12:12, Bak 4:2, 1 Bas 5:17 2n'agamba nti, “ Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatyanga Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa; 3era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; eyajjanga ew'omulamuzi oyo, ng'agamba nti, Nnamula n'omulabe wange.” 4Omulamuzi n'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti, “ Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; 5naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganyiza nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.”#Luk 11:7,8 6Mukama waffe n'agamba nti, “ Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba. 7Kale ne Katonda taliramula balonde be abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza? 8Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
Olugero lw'Omufalisaayo n'omuwooza
9N'abalala abaali beerowoozako ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, Yesu n'abagerera olugero luno nti, 10“Abantu babiri baalinnya mu Yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza. 11Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti, ‘Ayi Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.#Is 58:2,3, Luk 16:15 12Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna’ #Mat 23:23 13Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti, ‘Ayi Katonda, onsaasire nze alina ebibi.’ #Zab 51:1 14Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”#Luk 14:11, Mat 23:12, Ez 21:26
Yesu awa abaana abato omukisa
(Mat 19:13-15, Mak 10:13-16)
15Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.#Mat 19:13-15, Mak 10:13-16 16Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti, “ Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. 17Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.”#Mat 18:3
Omusajja omugagga,
(Mat 19:16-30, Mak 10:13-16)
18N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”#Mat 19:16-29, Mak 10:17-30 19Yesu n'amugamba nti, “ Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi wabula omu yekka, ye Katonda. 20Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.”#Kuv 20:12-16, Ma 5:16-20 21N'agamba nti, “ Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange.” 22Yesu bwe yawulira ekyo n'amugamba nti, “ Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”#Mat 6:20 23Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo kubanga yali mugagga nnyo. 24Awo Yesu bwe yalaba n'agamba nti, “ Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 26Abaawulira ebyo ne bagamba nti, “ Kale ani ayinza okulokoka?” 27Naye Yesu n'agamba nti, “ Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.” 28Peetero n'agamba nti, “ Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.” 29N'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, 30ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.”
Yesu ayogera omulundi ogwokusatu ku kufa kwe
(Mat 20:17-19, Mak 10:32-34)
31 # Mat 20:17-19, Mak 10:32-34 Yesu n'atwala abo ekkumi n'ababiri (12) n'abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi ku Mwana w'omuntu birituukirira.#Luk 9:22,44 32Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga aliduulirwa, aliswazibwa, aliwandirwa amalusu: 33balimukuba enkoba balimutta; era ku lunaku olwokusatu alizuukira.” 34Abayigirizwa be ne batategeererawo ku ebyo n'ekimu n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.#Mak 9:32
Yesu awonya muzibe omusabiriza
(Mat 20:29-34, Mak 10:46-52)
35Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza;#Mat 20:29-34, Mak 10:46-52 36awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti, “kiki ekyo.” 37Ne bamubuulira nti, “ Yesu Omunazaaleesi ayita.” 38N'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Yesu, omwana wa Dawudi, onsaasire.” 39N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.” 40Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi n'amubuuza nti, 41“ Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti, “ Mukama wange, njagala okuzibula.” 42Yesu n'amugamba nti, “Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde.” 43Amangwago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda.

Айни замон обунашуда:

Lukka 18: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy