Lukka 20

20
Yesu bamubuuza ku buyinza bwe
(Mat 21:23-27, Mak 11:27-33)
1Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza abantu mu Yeekaalu, ng'abuulira Enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bajja;#Mat 21:23-27, Mak 11:27-33 2ne boogera naye ne bamugamba nti, “ Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?” 3N'addamu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mmumbuulire: 4okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu?” 5Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaatubuuza nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza? 6Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.” 7Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava. 8Yesu n'abagamba nti, “ Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.”
Olugero lw'abalimi mu lusuku lw'emizabbibu
(Mat 21:33-46, Mak 12:1-12)
9 # Mat 21:33-46, Mak 12:1-12 N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti, “ Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.#Is 5:1 10Awo mu biro eby'amakungula, abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kintu.#2 Byom 36:15,16 11N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu. 12N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba. 13Nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.’ 14Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe. 15Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu ne bamutta. Kale nnannyini lusuku olw'emizabbibu alibakola atya? 16Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala.” Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti, “Ebyo bireme okubaawo.” 17Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti, “Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti,
“Ejjinja abazimbi lye baagaana,
Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda? # Zab 118:22
18 Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; era oyo gwe lirigwako, lirimubetenta.” # Is 8:14
Okuwa Kayisaali omusolo
(Mat 22:15-22, Mak 12:13-17)
19Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumukwata mu kiseera ekyo; ne batya abantu, kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero.#Luk 19:48 20#Mat 22:15-22, Mak 12:13-17 Ne bamulabiriza, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri omufuzi owessaza n'eri obuyinza bwe.#Luk 11:54 21Ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda: 22Kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?” 23Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti, “ Kale munkemera ki? 24Mundage eddinaali. Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani?” Bo ne bagamba nti, “ Bya Kayisaali.” 25N'abagamba nti, “ Kale ebya Kayisaali mubisasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mubisasulenga Katonda.” 26Ne batayinza kumukwasa mu nsonga yonna mu kigambo ekyo kye yayogerera mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
Ebifa ku kuzuukira
(Mat 22:23-33, Mak 12:18-27)
27Abasaddukaayo abamu abagamba nti tewali kuzuukira ne bajja gy'ali, ne bamubuuza,#Mat 22:23-33,46, Mak 12:18-27,34 28nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde. 29Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana; 30n'ow'okubiri; 31n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bonna omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. 32Oluvannyuma n'omukazi naye n'afa. 33Kale mu kuzuukira aliba muk'ani ku abo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.” 34Yesu n'abagamba nti, “ Abaana b'ensi eno bawasa, era bafumbirwa, 35naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbirwa, 36kubanga baliba tebaakyafa nate: kubanga baliba nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.#1 Yok 3:1,2 37Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.#Kuv 3:2,6 38Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.”#Bar 14:8 39Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, oyogedde bulungi.” 40Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate.
Kristo ne Dawudi
(Mat 22:41-46, Mak 12:35-37)
41Yesu n'abagamba nti, “ Bayinza batya okugamba nti Kristo ye mwana wa Dawudi?”#Mat 22:41-45, Mak 12:35-37
42 Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, # Zab 110:1, Yok 7:42
43 Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.’ ”
44 “Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya?”
Okwekuuma abawandiisi
(Mat 23:1-36, Mak 12:38-40)
45Awo abantu bonna bwe baali nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, 46“ Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'okuweebwa entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga;#Luk 11:43 47era abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.”

Айни замон обунашуда:

Lukka 20: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy