1
Lukka 19:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.”
Муқоиса
Lukka 19:10 омӯзед
2
Lukka 19:38
nga bagamba nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe waggulu ennyo.”
Lukka 19:38 омӯзед
3
Lukka 19:9
Yesu n'amugamba nti, “ Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu.
Lukka 19:9 омӯзед
4
Lukka 19:5-6
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.” N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka.
Lukka 19:5-6 омӯзед
5
Lukka 19:8
Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti, “ Mukama wange, laba ekitundu ky'ebintu byange nkiwa abaavu; era oba nga waliwo omuntu yenna gwe nnalyazaamaanya ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.”
Lukka 19:8 омӯзед
6
Lukka 19:39-40
Abafalisaayo abamu abaali mu kibiina ky'abantu ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja amangwago ganaayogerera waggulu.”
Lukka 19:39-40 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео