Makko 8
8
1 #
Mat 15:32-39
Awo mu nnaku ezo, ebibiina bwe byayinga obungi nate, ne bataba na mmere, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti 2#Mak 6:34-44Nsaasira ebibiina, kubanga leero ennaku ssatu nga bali nange, so tebalina mmere; 3bwe mbasiibula okuddayo nga basiibye enjala, banaazirikira mu kkubo; n'abamu bava wala. 4Abayigirizwa be ne bamuddamu nti Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu? 5N'ababuuza nti Mulina emigaati emeka? Ne bamugamba nti Musanvu. 6N'alagira ebibiina okutuula wansi: n'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'amenyamu, n'awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina. 7Era baali balina obw'ennyanja butono: n'abwebaza, n'alagira n'obwo okubussa mu maaso gaabwe. 8#Ma 28:5Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu. 9Baali ng'enkumi nnya: n'abasiibula. 10Amangu ago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja ku njuyi ez'e Dalumanusa.
11 #
Yok 6:30
#
Mat 16:1-12
Abafalisaayo ne bafuluma ne bajja, ne batanula okumusokaasoka, nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. 12N'asinda nnyo mu mwoyo gwe, n'agamba nti ab'Emirembe gino banoonyeza ki akabonero? mazima mbagamba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero. 13N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda emitala w'eri.
14Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebaali nagyo mu lyato wabula omugaati gumu. 15#Luk 12:1, Mak 3:6N'abakuutira ng'agamba nti Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'ekizimbulukusa kya Kerode. 16Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Tetulina migaati. 17#Mak 6:52Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? temunnalaba, so temutegeera? emitima gyammwe mikakanyavu? 18#Yer 5:21, Ez 12:2Mulina amaaso, temulaba? Mulina amatu, temuwulira? so temujjukira? 19#Mak 6:41-44Bwe nnamenyera enkumi ettaano emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bwe mwakuŋŋaanya? Ne bamugamba nti Kkumi na bibiri. 20#Mak 8:6-9Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya, mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka? Ne bamugamba nti Musanvu. 21N'abagamba nti Temunnategeera?
22 #
Mak 6:56
Ne bajja ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira okumukomako. 23#Mak 7:32,33, Yok 9:6N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru w'embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti Oliko ky'olaba? 24N'atunula waggulu n'agamba nti Ndaba abantu, kubanga ndaba bafaanana ng'emiti, nga batambula. 25Ate n'amussa engalo ku maaso ge n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi. 26#Mak 7:36; 8:27—9:1, Mat 16:13-28, Luk 9:18-27N'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti Toyingiranga mu mbuga muno.
27Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu mbuga z'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuuka mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be, n'abagamba nti Abantu bampita ani? 28Ne bamugamba nti Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi. 29#Yok 6:67-69Ye n'ababuuza nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'amugamba nti Ggwe Kristo. 30#Mak 9:9N'abakomako baleme okubuulirako omuntu ebigambo bye. 31N'atanula okubayigiriza nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira. 32N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunneya. 33Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu. 34N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. 35#Mat 10:39Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'enjiri alibulokola. 36Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe? 37Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe? 38#Mat 10:33Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.
Obecnie wybrane:
Makko 8: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.