Matayo 25

25
1 # Luk 12:35,36, Kub 19:7 Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. 2Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n'abataano be baalina amagezi. 3Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta: 4naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe. 5Naye anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka. 6Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana. 7Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe. 8Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera. 9Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne bagamba nti Wozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulire. 10Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: n'abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo. 11#Luk 13:25,27Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo. 12#Mat 7:23Naye n'addamu n'agamba nti Mazima mbagamba nti sibamanyi. 13#Mat 24:42Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.
14 # Mat 21:33 # Luk 19:12-27 Kubanga buli ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye. 15#Bar 12:6N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwali; n'agenda. 16Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala. 17Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri, n'aviisaamu bbiri endala. 18Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima mu ttaka, n'akweka effeeza ya mukama we. 19Awo ebiro bingi bwe byayita, mukama w'abaddu bali n'ajja, n'abala nabo omuwendo. 20N'oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano: laba, naviisaamu ettalanta ttaano endala. 21#Mat 25:23, Mat 24:45-47, Luk 16:10Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. 22N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala. 23#Mat 25:21Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. 24N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanyavu ng'okungulira gy'otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaayiyira: 25ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo: laba, eyiyo oli nayo. 26Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti Oli muddu mubi mugayaavu, wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira; 27kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu. 28Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi. 29#Mat 13:12Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi: naye atalina, aliggibwako na kiri ky'ali nakyo. 30N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.
31 # Mat 16:27, Zek 14:5, Kub 20:11-13 Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye: 32#Bar 14:10n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu endiga n'embuzi: 33#Ez 34:17endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono. 34Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi: 35#Is 58:7kubanga nnalina enjala ne mumpa ekyokulya: nnalina ennyonta ne munnywesa: nnali mugenyi ne munsuza; 36nnali bwereere ne munnyambaza: nnali mulwadde ne munnambula: nnali mu nvuba, ne mujja mundaba. 37#Mat 6:3Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa? 38Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? oba ng'oli bwereere ne tukwambaza? 39Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba mu nvuba, ne tujja tukulaba? 40#Nge 19:17, Beb 2:11Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze. 41#Mat 7:23, Kub 20:10,15Awo alibagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be: 42kubanga nnalina enjala, temwampa kyakulya: nnalina ennyonta, temwannywesa: 43nnali mugenyi, temwansuza: nnali bwereere, temwannyambaza: mulwadde, ne mu nvuba, temwannambula. 44Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu nvuba, ne tutakuweereza? 45Awo alibaddamu, ng'agamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakola omu ku abo abasinga obuto, temwakikola nze. 46#Yok 5:29, Dan 12:2Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.

Obecnie wybrane:

Matayo 25: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj