Matayo 24

24
1 # Mak 13:1-37, Luk 21:5-36 Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu. 2#Luk 19:44Naye n'addamu n'abagamba nti Temulaba bino byonna? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo? 4Yesu n'addamu n'abagamba nti Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga. 5#Mat 24:24, Yok 5:43, Bik 5:36,37, 1 Yok 2:18Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi. 6#Dan 2:28Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. 7#Is 19:2, 2 Byom 15:6Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu. 8Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa. 9#Mat 10:17,22, Yok 16:2Lwe balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange. 10#Dan 11:41Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana. 11#Mat 7:15, 1 Yok 4:1Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi. 12#2 Bas 2:10, 2 Tim 3:1-5Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola. 13#Mat 10:22, Kub 13:10Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa. 14#Mat 28:19; 10:18N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja.
15 # Dan 9:26,27; 12:11 Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere), 16kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi: 17#Luk 17:31ali waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye: 18ali mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye. 19Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! 20#Bik 1:12Nammwe musabe ekidduko kyammwe kireme okuba mu biro eby'empewo, newakubadde ku ssabbiiti: 21#Dan 12:1, Yo 2:2kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate. 22Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako. 23Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga. 24#Mat 5:11, Ma 13:1-3, 2 Bas 2:8,9Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika. 25Laba, mbalabudde. 26Kale bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga. 27#Luk 17:23,24Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 28#Yob 39:30, Kaab 1:8, Luk 17:37Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.
29 # Is 13:10; 34:4, 2 Peet 3:10 Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa: 30#Kub 1:7, Mat 26:64, Dan 7:13,14, Zek 12:10, Kuv 19:11awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene. 31#1 Kol 15:52, 1 Bas 4:16, Kub 8:1,2, Is 27:13, Zek 2:6, Ma 30:4Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo.
32Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; 33bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi. 34Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa. 35#Mat 5:18Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala. 36#1 Bas 5:1,2Naye eby'olunaku luli n'ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka. 37#Lub 6:11-13, Luk 17:26,27Naye ng'ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 38#2 Peet 3:5,6, Lub 7:7Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, 39ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 40#Luk 17:35,36Mu biro ebyo abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa: 41abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 42#Mat 25:13Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'ajjirako. 43#Luk 12:39-46Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. 44#Kub 16:15Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w'omuntu ky'ajjiramu. 45Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? 46Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ng'akola bw'atyo. 47#Mat 25:21,23Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna. 48#Mub 8:11Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde; 49era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu; 50mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atalindiririramu, ne mu kiseera ky'atamanyi, 51#Mat 8:12alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe wamu ne bannanfuusi: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.

Obecnie wybrane:

Matayo 24: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj