Matayo 12

12
1 # Mak 2:23-28, Luk 6:1-5, Ma 5:14; 23:25 Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya. 2#Kuv 20:10Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti. 3#1 Sam 21:1-6Naye n'abagamba nti Temusomanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo; 4#Leev 24:9bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy'omuzizo ye okugirya, newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka? 5#Kubal 28:9Nantiki temusomanga mu mateeka, bakabona mu yeekaalu ku ssabbiiti bwe baasobya ssabbiiti, so tebazza musango? 6Naye mbagamba nti ali wano asinga yeekaalu obukulu. 7#Mat 9:13, Kos 6:6Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango. 8Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.
9 # Mak 3:1-6, Luk 6:6-11 N'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe: 10#Luk 14:3era, laba, mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? era bamuwawaabire. 11#Luk 14:5N'abagamba nti Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu, n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata okugiggyamu? 12Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti. 13N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri. 14#Yok 5:16Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza. 15Yesu bwe yategeera n'avaayo: abantu bangi ne bagenda naye; n'awonya bonna, 16#Mat 8:4n'abakomako baleme okumwatiikiriza: 17#Is 42:1-4; 41:9kituukirire ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti
18 # Mat 3:17 Laba mulenzi wange gwe nnalondamu;
Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange:
Ndimuteekako Omwoyo gwange,
Alibuulira amawanga omusango.
19Taliyomba, so talireekaana;
So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20Olumuli olwatifu talirumenya,
So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza,
Okutuusa lw'alisindika omusango okuwangula.
21N'erinnya lye amawanga galirisuubira.
22 # Mak 3:30, Luk 11:14-26; 11:29-32 Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba. 23Ebibiina ne bisamaalirira byonna, ne byogera nti Ono ye mwana wa Dawudi? 24#Mat 9:34Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. 25Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo; 26ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya? 27Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango. 28#1 Yok 3:8Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. 29#Is 49:24, 1 Yok 4:4Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye. 30#Mak 9:40, Yok 11:52Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 31#Beb 6:4,6; 10:26, 1 Yok 5:16Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika. 32#Luk 12:10, 1 Tim 1:13Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja. 33#Mat 7:17Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. 34#Mat 3:7, Yok 8:43; 12:39, Bar 8:7Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. 35#Luk 6:45Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi. 36Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. 37Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango.
38 # Mat 16:1, 1 Kol 1:22 Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe. 39Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona: 40#Yon 1:17Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka. 41#Yon 3:5Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano. 42#1 Bassek 10:1-10Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. 43Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa. 44Kale agamba nti Naddayo mu nnyumba yange mwe nnava; bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, ng'erongoosebbwa. 45#2 Peet 2:10Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi.
46 # Mat 13:55 # Mak 3:31-35, Luk 8:19-21 Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye. 47Omuntu n'amugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde bweru, baagala kwogera naawe. 48#Luk 2:49Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange? 49N'agolola omukono eri abayigirizwa be, n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange! 50#Bar 8:29, Yok 15:14Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.

Obecnie wybrane:

Matayo 12: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj