1
Matayo 12:36-37
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango.
Porównaj
Przeglądaj Matayo 12:36-37
2
Matayo 12:34
Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.
Przeglądaj Matayo 12:34
3
Matayo 12:35
Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.
Przeglądaj Matayo 12:35
4
Matayo 12:31
Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika.
Przeglądaj Matayo 12:31
5
Matayo 12:33
Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.
Przeglądaj Matayo 12:33