Yona 3
3
1Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera 2nti Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba. 3Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya. 4Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira. 5#2 Byom 20:3, Mat 12:41Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. 6#Yob 1:20; 2:8Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu. 7#Dan 6:26, Yo 1:14, Yon 4:11N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi; 8#Is 59:6, Yer 18:11naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo. 9#2 Sam 12:22, Yo 2:14Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira? 10#Yer 18:8Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola.
Obecnie wybrane:
Yona 3: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.