Logo aplikacji Biblia
Ikona wyszukiwania

Yona 2

2
1Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu lubuto olw'ekyennyanja. 2#Zab 118:5; 120:1, Kung 3:55,56N'ayogera nti
Nakaabirira Mukama kubanga nalaba ennaku, N'anziramu;
Mu lubuto lw'emagombe nakoowoola;
N'owulira eddoboozi lyange.
3 # Zab 42:7; 88:6,7 Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw'ennyanja,
Amataba ne ganneetooloola;
Amayengo go gonna n'amasingiisira go gaayita waggulu ku nze.
4 # 1 Bassek 8:35,38, Zab 31:22 Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go;
Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu.
5 # Zab 69:1 Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu;
Obuziba bwanneetooloola;
Endago zambikka ku mutwe gwange.
6 # Zab 16:10; 103:4 Ne nzika ensozi we zisibuka;
Ensi n'ebisiba byayo ne binzigalira emirembe gyonna;
Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama, Katonda wange.
7 # 1 Bassek 8:30, Zab 107:5; 142:3 Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama;
N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu.
8 # 2 Bassek 17:15, Yer 2:5,13 Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe.
9 # Zab 50:14 Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza;
Naasasula obweyamo bwange.
Obulokozi buva eri Mukama.
10Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.

Obecnie wybrane:

Yona 2: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj