Amosi 6
6
1 #
Is 32:9, Ez 22:6, Zef 1:12, Luk 6:24 Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw'e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri! 2#Is 10:9Muyite mugende e Kalune mulabe; muveeyo mugende e Kamasi ekikulu: mulyoke muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba ensalo yaabwe ekira ensalo yammwe obugazi? 3#Ez 12:27, Am 9:10Mmwe abateeka ewala olunaku olubi ne musembeza kumpi entebe ey'ekyejo; 4#Es 1:6, Yak 5:5abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegololera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, n'ennyana nga baziggya mu kisibo; 5#Is 5:12abayimbira ennyimba ezitaliimu ku ddoboozi ery'ennanga; abeegunjira ebintu ebivuga nga Dawudi; 6abanywera omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obulungi; naye tebanakuwalidde kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu. 7#Am 7:11,17Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo. 8#Zab 47:4, Yer 51:14Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamwa amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu. 9#Am 8:3Awo olulituuka abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu balifa. 10#2 Byom 16:14, Am 5:13Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuyi ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale n'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama. 11#Am 3:15Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika. 12#Am 5:7Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso: 13#1 Bassek 22:11mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe? 14#2 Bassek 14:25, Yer 5:15Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.
Obecnie wybrane:
Amosi 6: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.