Logo aplikacji Biblia
Ikona wyszukiwania

Amosi 5

5
1 # Ez 19:1 Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai ennyumba ya Isiraeri. 2#Kung 2:1Omuwala wa Isiraeri agudde; takyayimuka nate: asuuliddwa wansi ku nsi ye tewali wa kumuyimusa. 3Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri. 4#2 Byom 15:3, Zef 2:3Kubanga bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti Munnoonye, kale munaabanga balamu: 5#Am 4:4; 8:14naye temunoonyanga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temuyitanga okugenda e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kugenda mu busibe, ne Beseri kiriggwaawo. 6Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri: 7mmwe abafuula omusango okuba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu; 8#Yob 9:9; 38:31, Zab 104:6,7,20, Am 4:13; 9:6munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye; 9aleeta okuzikirira ku w'amaanyi nga tamanyiridde, okuzikirira ne kutuuka ku kigo. 10#Luus 4:1, 1 Bassek 22:8, Is 29:21Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu. 11#Ma 28:30,39, Yak 2:6Kale kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumukamula eŋŋaano: mwazimba ennyumba ez'amayinja amateme, naye temulizituulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu. 12#1 Sam 8:3; 12:3, Am 2:7Kubanga mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi; mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango. 13#Mi 2:3Omukabakaba kyaliva asirika mu biro ebifaanana bwe bityo; kubanga bye biro ebibi. 14#Ma 30:15,19Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeerenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera. 15#Yo 2:14, Bar 12:9Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: mpozzi Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo. 16#Yer 9:17,18Mukama Katonda ow'eggye, Mukama, kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobe biriba mu nguudo zonna engazi; era balyogerera mu makubo gonna nti Woowe, woowe! kale baliyita omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe. 17#Kuv 12:12Awo mu nsuku zonna ez'emizabbibu mulibaamu ebiwoobe: kubanga ndiyita mu ggwe wakati, bw'ayogera Mukama. 18#Yo 1:15; 2:1,2Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? kizikiza so si musana. 19#Is 24:18Kwenkana omusajja ng'adduka empologoma, n'asisinkana eddubu n'esisinkana naye: oba ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe, omusota ne gumuluma. 20Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala? 21#Zab 51:16, Is 1:11,14Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu. 22Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, siribikkiriza: so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo zammwe eza ssava. 23#Am 8:3Nziyaako oluyoogaano olw'ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi. 24Naye omusango gukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogw'amaanyi. 25#Bik 7:42,43Mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu emyaka amakumi ana, ai ennyumba ya Isiraeri? 26#Ma 32:17Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera. 27#2 Bassek 16:6Kyendiva mbatwaza mu busibe okuyita e Ddamasiko, bw'ayogera Mukama, erinnya lye Katonda ow'eggye.

Obecnie wybrane:

Amosi 5: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj