N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti
Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
Era nti
Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyayogerwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.