Lukka 4:5-8

Lukka 4:5-8 LUG68

N'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono. Setaani n'amugamba nti Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. Kale bw'onoosinza mu maaso gange, buno bwonna bunaaba bubwo. Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'oweerezanga yekka.