1
Abaruumi 14:17-18
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
Vergelijk
Ontdek Abaruumi 14:17-18
2
Abaruumi 14:8
Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
Ontdek Abaruumi 14:8
3
Abaruumi 14:19
Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka.
Ontdek Abaruumi 14:19
4
Abaruumi 14:13
Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi.
Ontdek Abaruumi 14:13
5
Abaruumi 14:11-12
Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ” Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
Ontdek Abaruumi 14:11-12
6
Abaruumi 14:1
Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.
Ontdek Abaruumi 14:1
7
Abaruumi 14:4
Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
Ontdek Abaruumi 14:4