Okubala 4
4
Emirimu gy'Abaleevi ab'olulyo lw'Abakokasi
1Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 2“Mubale abasajja Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, 3abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.#Kubal 4:23,30,35,39,43,47; 8:24, 1 Byom 23:3,24,27 4Omulimu Abakokasi gwe banaakolanga mu Weema eyo, gwe gw'okulabiriranga ebintu ebitukuvu ennyo.#Kubal 4:19
5“Olusiisira bwe lunaabanga luggyibwawo, Alooni n'abaana be banaayingiranga ne batimbululanga olutimbe ne balubikka ku ssanduuko ey'obujulirwa.#Kuv 25:10,16; 26:31 6era ne bagibikkako amaliba amagonvu, era ne baaliirirako olugoye olwa bbulu, ne bagiyingizamu emisituliro gyayo.#Kuv 25:13
7“Ne ku mmeeza okuteekwa emigaati egiweebwayo eri Mukama, banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe ebikozesebwa mu biweebwayo eby'okunywa; n'emigaati egiweebwa Mukama ginaabanga okwo ekiseera kyonna;#Kuv 25:23-30, Leev 24:6,8#4:7 EmigaatiEgyateekebwanga ku mmeeza Emigaati egyo gyabanga kabonero akalaga nti Mukama waali awo. 8era banaabibikkangako olugoye olumyufu, era ku lwo ne balyoka babikkako amaliba amagonvu, ne bagiyingizaamu emisituliro gyayo.#Kuv 25:28
9“Ekikondo ky'ettabaaza, n'ettabaaza zaakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta binaabikkibwangako n'olugoye olwa bbulu,#Kuv 25:31-38 10ne bakisabika n'ebintu byakyo byonna mu maliba amagonvu, ne bakiteeka ku muti kwe kisitulirwa. 11Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne babikkako amaliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo;#Kuv 30:1,3,5 12ne baddira ebintu byonna ebikozesebwa mu watukuvu ne babisabika mu lugoye olwa bbulu ne babibikkako amaliba amagonvu, ne babiteeka ku muti kwe bisitulirwa. 13Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakizinga mu lugoye olwa kakobe, 14ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye bakozesa: engyo, amakato ge bakwasa ennyama, ebijiiko, ebibya, n'ebintu byonna eby'ekyoto ebirala, ne babisabika mu maliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo. 15Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ebintu byonna eby'omuwatukuvu; ng'okusitula kutuuse, ab'olulyo lwa Kokasi ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebakwatanga ku bintu ebitukuvu byonna, baleme okufa. Egyo gy'emirimu gy'abasajja ab'omu lulyo lwa Kokasi mu Weema ey'okusisinkanirangamu.#Kubal 3:31; 7:9, 2 Sam 6:6,7 16Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, y'anavunaanyizibwanga okuterekanga amafuta g'ettabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'eweema n'ebigirimu byonna; awatukuvu n'ebintu byamu byonna.”#Kuv 25:6; 29:40,41; 30:25,34,35, Kubal 3:32
17Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 18“Temukkirizanga lulyo lwa Kokasi kuzikirizibwanga okuva mu Baleevi; 19naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, nga basemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne bagabira buli muntu omulimu gwe; 20naye ab'olulyo lwa Kokasi tebagezanga ne bayingira okutunula ku bintu byonna ebitukuvu, baleme okufa.”#Kuv 19:21, 1 Sam 6:19
Emirimu gy'Abaleevi ab'olulyo lw'Abagerusoni
21Mukama n'agamba Musa nti, 22“Era bala abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusoni, ng'ennyumba za bakitaabwe n'enda zaabwe bwe ziri; 23abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. 24Gino gy'emirimu gy'abaana ba Gerusoni gye banaakolanga: 25banaasitulanga entiimbe z'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era n'ebigibikkako: eky'omunda n'eky'okungulu, eby'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu,#Kuv 26:1-14,36, Kubal 3:25,26 26n'entimbe ez'oluggya, n'olw'omu mulyango ogwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emiguwa gyabyo, n'ebintu byonna ebikozesebwa okuweereza. Ebyo bye banaakolanga. 27Alooni ne batabani be, be banaagabiranga ab'olulyo lwa Gerusoni emirimu gye banaakolanga. 28Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabanga omukulu waabwe.
Emirimu gy'Abaleevi ab'olulyo lwa Merali
29“Era onoobala ab'olulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri; 30abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu gy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. 31Gino gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu: okusitula embaawo z'Eweema n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi;#Kubal 3:36 32n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, ebikozesebwa mu kuweereza kwonna. Banaagabirwanga emirimu egy'okukola ng'omuwendo gwabwe bwe guli.#Kubal 3:37 33Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabaanga omukulu waabwe.”
Okubala Abaleevi
34Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala ab'olulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 35abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu. 36Abaabalibwa baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano (2,750). 37Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Kokasi, okukolanga emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira.
38N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Gerusoni, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 39abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu; 40baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu (2,630). 41Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Gerusoni, abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira.
42N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 43abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu, 44baali enkumi ssatu mu bibiri (3,200). 45Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Merali nga Mukama bwe yabalagira.
46Abo bonna Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala ku Baleevi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 47abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abayinza okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu, 48baali kanaana mu bitaano mu kinaana (8,580). 49Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'abala abantu abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'emirimu gyabwe bwe gyali.
Attualmente Selezionati:
Okubala 4: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.