Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 3

3
Batabani ba Alooni
1Lino lye zzadde lya Alooni ne Musa, mu kiseera Mukama kye yayogereramu ne Musa ku Lusozi Sinaayi. 2Era gano ge mannya g'abaana ba Alooni: Nadabu, omubereberye, Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali.#Kuv 6:23 3Ago ge mannya ga batabani ba Alooni; bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona.#Kuv 28:41, Leev 8:1-33 4Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu ly'e Sinaayi; ne bataba na baana. Awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweerezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.#Leev 10:1,2
Abaleevi baweebwa omulimu ogw'okuweerezanga bakabona
5Mukama n'agamba Musa nti, 6“Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezenga.#Kubal 18:2 7banaayambanga kabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'okusisinkanirangamu.#Kubal 1:50; 8:11,15,24,26 8Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, n'okukolanga okuweereza okw'omu Weema. 9Era onooggyanga Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri baweerezenga Alooni ne batabani be.#Kubal 8:19; 18:6 10Era onooteekawo Alooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.”#Kubal 1:51; 18:7
11Awo Mukama n'agamba Musa nti, 12“Mu kifo ky'okutwala ababereberye ab'obulenzi mu baana ba Isiraeri, Nze ntuttemu Abaleevi okuba abange.#Kubal 8:16; 18:6 13Ababereberye bonna bange; okuviira ddala ku lunaku lwe nnattirako ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri, nneeroboza ababereberye bonna mu Isiraeri, okuva mu bantu era n'ensolo. Banaabanga bange, Nze Mukama.”#Kuv 13:2, Kubal 8:17
Okubala Abaleevi
14Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu ly'e Sinaayi nti, 15“Bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri, buli mwana mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo onoomubala.”#Kubal 1:47; 3:39; 26:62 16Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa. 17Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali: Gerusoni, Kokasi ne Merali.#Lub 46:11 18Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi. 19Abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwe zaali be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. 20N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
21Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi; ezo ze nda z'Abagerusoni. 22Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kasanvu mu bitaano (7,500). 23Ab'enda z'Abagerusoni banaasiisiranga emabega w'Eweema ku luuyi olw'ebugwanjuba.#Kubal 1:53 24Eriyasaafu, mutabani wa Laeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba ey'Abagerusoni. 25Omulimu gwa ba Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, gunaabanga gwa kugirabiriranga, awamu n'ebyo ebigibikkako munda ne kungulu, n'okulabirira olutimbe olw'omu mulyango gwayo,#Kuv 27:9,16; 35:18 26n'entimbe ez'oluggya ezirwetooloola, n'ekyoto, n'olutimbe lw'omulyango gw'oluggya olwo, n'emiguwa gyalwo egikozesebwa ku mulimu gwalwo gwonna.
27Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, ey'Abaizukaali, ey'Abakebbulooni, n'ey'Abawuziyeeri; ezo ze nda z'Abakokasi. 28Omuwendo gw'abasajja bonna abaali bawezezza omwezi gumu n'okusingawo gwali kanaana mu lukaaga (8,600). Abo be baalabiriranga awatukuvu nga bwe baalagirwa. 29Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'Eweema olw'obukiikaddyo.#Kubal 1:53 30Era Erizefani, mutabani wa Wuziyeeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba y'Abakokasi. 31Era omulimu gwabwe gunaabanga kulabirira ssanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa n'olutimbe n'okuweereza kwalwo kwonna.#Kuv 25:10,23,31; 26:36; 27:1; 30:1, Kubal 4:1 32Ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.
33Mu Merali mwe mwava enda y'Abamakuli n'enda y'Abamusi; ezo ze nda za Merali. 34Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kakaaga mu bibiri (6,200). 35Era Zuliyeeri, mutabani wa Abikayiri ye mukulu w'enda ya Merali; abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiikakkono.#Kubal 1:53 36N'omulimu ogw'abaana ba Merali gunaabanga okulabirira embaawo ez'e Weema, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;#Kuv 26:15,19,26,32,37, Kubal 4:31,32 37n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo.#Kuv 27:10,19, Kubal 4:32 38Musa ne Alooni ne batabani be banaasiisiranga mu maaso g'Eweema ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba gy'eva, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa. Omuntu yenna anaasemberanga anattibwanga.#Kubal 1:51,53; 18:5 39Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).#Kubal 3:22,28,34; 26:62
Abaleevi badda mu kifo ky'abalenzi ababereberye
40Mukama n'agamba Musa nti, “Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, owandiike amannya gaabwe. 41Era mu kifo ky'abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, njawulira Abaleevi babe bange, Nze Mukama. Era njawulira ebisibo by'Abaleevi bibe byange mu kifo ky'embereberye zonna, mu bisibo by'abaana ba Isiraeri.”#Kubal 3:12,45 42Awo Musa n'abala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, nga Mukama bwe yamulagira. 43N'abasajja ababereberye bonna abaali bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, omuwendo gwabwe gwali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu (22,273).
44Mukama n'agamba Musa nti, 45“Njawulira Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri babe bange, n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo by'abaana ba Isiraeri; binaabanga byange, Nze Mukama.#Kubal 3:12,41 46Olw'okununula abasajja ababereberye ebibiri mu ensanvu mu basatu (273) ab'oku baana ba Isiraeri abasukka ku muwendo gw'Abaleevi,#Kuv 13:13, Kubal 3:39,43; 18:15 47onoosoloozanga sekeri ttaano ku buli muntu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, ze gera abiri (20),#Kubal 18:16 48era omuwendo ogwo ogw'okununula abo abasukkamu, onooguwanga Alooni ne batabani be.” 49Musa n'abasoloozako ffeeza enunula abo abaasukka ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi. 50Omuwendo ogwasoloozeebwa ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi gwali sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu (1,363), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri.#Kubal 3:46,47 51Awo Musa n'awa Alooni ne batabani be omuwendo gwonna ogwasoloozeebwa, nga Mukama bwe yamulagira.

Attualmente Selezionati:

Okubala 3: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi