Okubala 28
28
Ebiweebwayo ebya buli lunaku
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Ekirabo kyange eky'emmere, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi kye nsanyukira, munaakiwangayo mu kiseera kyakyo ekyalagirwa.’ ”#Lub 8:21, Leev 3:11 3Era onoobagamba nti, “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama: abaana b'endiga abalume abataliiko bulema, abawezezza omwaka gumu, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo.#Kuv 29:38-42 4Omwana gw'endiga ogumu onooguwangayo enkya, n'ogwokubiri onooguwangayo akawungeezi; 5n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta agasinga obulungi.” 6Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. 7N'ekiweebwayo eky'okunywa ekigendera ku mwana gw'endiga oguweebwayo enkya, kinaabanga kitundu kya kuna ekya ini. Ekiweebwayo ekyo kinaabanga kika, era onookifukanga mu watukuvu eri Mukama. 8Ne ku mwana gw'endiga ogwokubiri oguweebwayo akawungeezi, onoowangayo eky'okunywa kyakwo nga bwe kiragirwa. Bw'otyo bw'onoowangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi.
Ekiweebwayo eky'oku Ssabbiiti
9“Ne ku Ssabbiiti munaawangayo endiga ento ennume ezitaliiko bulema, eziwezezza omwaka, bbiri; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo. 10Ekyo kye kiweebwayo ekya buli Ssabbiiti, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo.”
Ekiweebwayo Eky'olunaku Olusooka olwa Buli Mwezi
11“Era ku buli lunaku olusooka olwa buli mwezi, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, endiga ento musanvu ezitaliiko bulema eziwezezza omwaka;#Kubal 10:10, 1 Sam 20:5, 1 Byom 23:31, Is 1:13,14, Bak 2:16 12n'ebitundu eby'ekkumi bisatu ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ku buli ndiga;#Kubal 15:4-12 13n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli ndiga nto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 14N'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako bye bino: ku nte; ekitundu eky'ekkumi eky'evinnyo. Ku ndiga ennume, ekitundu eky'okusatu ekya ini; ku ndiga ento ekitundu ekyokuna ekya ini. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku olusooka olw'omwezi okumalako omwaka gwonna. 15Ku ebyo byonna on'ogattangako ekiweebwayo eri Mukama, embuzi ennume emu.#Kubal 15:24
Ebiweebwayo ku Mbaga Ey'okuyitako
16“Era ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, olw'omwezi ogwolubereberye mu mwaka, wanaabangawo embaga ey'Okuyitako kwa Mukama.#Kuv 12:3-11 17Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, wanaabangawo embaga Ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, eginaaliibwanga okumala ennaku musanvu.#Kuv 12:15-20, Leev 23:6, Mat 26:17 18Ku lunaku olwolubereberye olw'embaga eyo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.#Leev 23:7 19Munaawangayo ekiweebwayo eky'okebwa n'omuliro eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu n'endiga ento ennume musanvu eziwezezza omwaka ezitaliiko bulema.#Leev 22:20, Ma 15:21 20Era munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; 21n'ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu; 22n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira. 23Munaawangayo ebyo, ne mugattako ekiweebwayo eky'okebwa eky'enkya ekya buli lunaku. 24Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama awamu n'eky'okunywa kyakwo.#Leev 23:8 25Ne ku lunaku olw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.
Ebiweebwayo ku Mbaga Ey'amakungula
26“Ku lunaku olusooka olw'embaga ey'amakungula, emala ennaku omusanvu, kwe munaaweerangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama, wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.#Kuv 23:16, Leev 23:10,15,16, Ma 16:10 27Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka;#Leev 23:18,19 28n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekigenderako ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; 29Era munaawangayo ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu, 30n'embuzi ennume emu okubatangirira. 31Awamu n'ebyo, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. Mugenderere, mulabe ng'ebiweebwayo byonna tebiriiko bulema.
Attualmente Selezionati:
Okubala 28: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.