Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 27

27
Bawala ba Zerofekadi basaba obutaka
1Awo Maala, Noowa, Kogula, Mirika ne Tiruza, bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, abasibuka mu nda ya Manase mutabani wa Yusufu;#Kubal 26:33; 36:1-11, Yos 17:3 2ne bajja eri Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'abakulembeze, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne bagamba nti, 3“Kitaffe yafiira mu ddungu, nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koola okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye ye.#Kubal 16:1-3 4Lwaki erinnya lya kitaffe liggyibwawo okuva mu Isiraeri, lwakubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu kika kya kitaffe.”#Yos 17:4 5Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.#Kuv 18:19 6Mukama n'agamba Musa nti, 7“Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga; oteekwa okubawa obutaka mu kika kya kitaabwe, era basikire omugabo gwa kitaabwe.#Kubal 36:2 8Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we anaasikiranga ebintu bye. 9Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe. 10Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale obusika munaabuwanga baganda ba kitaawe. 11Era kitaawe bw'anaabanga talina baganda be, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda mu kika kye; Lino linaabanga etteeka Abaisiraeri lye banaakuumanga; nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”#Kubal 35:29, Luus 4:3-6
Yoswa alondebwa okusikira Musa
12Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri.#Kubal 33:47, Ma 3:27; 32:49 13Kale bw'onoomala okugirengera, ofiire eyo nga muganda wo Alooni naye bwe yafa; 14kubanga mwajeemera ekigambo kyange e Kadesi, mu ddungu Zini, ekibiina ky'abaana ba Isiraeri bwe beemulugunya olw'obutaba na mazzi, ne mutampa kitiibwa.” Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.#Kubal 20:1,12,13 15Awo Musa n'asaba Mukama nti, 16“Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, alonde omuntu omulala an'akulembera abantu be,#Kubal 16:22 17anaabakumakumanga, baleme kuba ng'endiga ezitalina musumba.”#Ma 31:2, 1 Sam 8:20, 1 Bassek 3:7; 22:17, Mat 9:36 18Mukama n'agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo;#Lub 41:38, Ma 34:9, Balam 3:10 19omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omuteekewo era omukuutire byateekwa okukola mu maaso gaabwe bonna.#Ma 31:7 20Era on'omuwa ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimugonderenga. Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimuwulirenga.#Yos 1:16-18 21Anaagendanga eri Eriyazaali kabona, ne Eriyazaali anaamubuulizanga Mukama, era Mukama anaamwanukulaga okuyita mu Ulimu; bw'atyo Eriyazaali anaaluŋŋamyanga Yoswa, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.”#Kuv 28:30, Yos 9:14, 1 Sam 23:9; 28:6 22Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna, 23n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yamulagira.

Attualmente Selezionati:

Okubala 27: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi