Okubala 12
12
Miryamu abonerezebwa
1Awo Miryamu ne Alooni ne boogera bubi ku Musa kubanga yawasa omukazi Omukuusi.#Kuv 15:20, Kubal 26:59#12:1 Kuusi Ensi Kuusi kati y'ensi gyetuyita etwaliramu Sudani n'Esiyopiya 2Ne boogera nti, “Mazima ddala Mukama yayogerera mu Musa yekka? Tayogerera mu ffe?” Mukama n'abiwulira.#Kuv 4:15, 2 Bassek 19:4, Ez 35:12 3Naye omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna. 4Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti, “Mwensatule mufulume mujje ku Weema ey'okusisinkanirangamu.” Awo bonsatule ne bafuluma. 5Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu; bombi ne basembera.#Kubal 11:25 6N'ayogera nti, “Muwulire nno ebigambo byange; mummwe bwe munaabangamu nnabbi, neeyolekanga gy'ali mu kwolesebwa oba nnaayongeranga naye mu kirooto.#Lub 20:3; 46:2 7Naye eri omuddu wange Musa si bwe kiri bwe kityo; oyo nnamukwasa ennyumba yange yonna.#Zab 105:26, Beb 3:2,5 8Oyo njogera naye maaso n'amaaso, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'enfaanana yange agiraba. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muddu wange Musa?”#Kuv 33:11,19-23, Kubal 7:89
9Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; n'avaawo. 10Ekire ne kiva waggulu ku weema; era laba, Miryamu ng'aliko ebigenge, ng'atukula ng'omuzira. Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, nga agengewadde! 11Alooni n'agamba Musa nti, “Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era tukoze ekibi.#2 Sam 19:19 12Nkwegayiridde ono tomuleka kuba ng'omwana azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.” 13Awo Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti, “Muwonye, ayi Katonda, nkwegayiridde.” 14Mukama n'agamba Musa nti, “ Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale asibirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.”#Leev 13:46, Kubal 5:2,3, Ma 25:9 15Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu. Abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate. 16Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani.#Kubal 10:12; 11:35
Attualmente Selezionati:
Okubala 12: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.