Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 9

9
Alooni awaayo Ssaddaaka
1Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri;#Ez 43:27 2n'agamba Alooni nti, “Twala ente ennume ento okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa; nga teziriiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama.#Leev 1:0 3Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti, ‘Mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, eziwezezza omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;#Leev 1:3,10; 4:23 4n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta; kubanga leero Mukama anaabalabikira.’ ”#Kuv 29:43, Leev 2:4; 3:1,6 5Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. 6Musa n'ayogera nti, “Bino Mukama bye yabalagira okukola; era ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.” 7Musa n'agamba Alooni nti, “Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu; oweeyo ekiweebwayo eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.”#Leev 4:16,30, Beb 5:1-3
8Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe. 9Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi; n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,#Leev 4:6,7; 8:15 10naye amasavu n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira.#Leev 4:8-10; 8:16 11Ennyama n'eddiba n'abyokera ebweru w'olusiisira.#Leev 4:11,12; 8:17
12N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.#Leev 1:5; 8:19 13Ne bamuleetera ebitundutundu bye kiweebwayo ekyokebwa kinnakimu, n'omutwe; n'abyokera ku kyoto.#Leev 1:6; 8:20 14N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.#Leev 8:21; 1:9 15N'aleeta ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'abantu; naddira embuzi n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga bwe yakoze eyolubereberye.#Leev 6:25; 9:3,7,8 16N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.#Leev 1:3,10 17N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako olubatu, n'abwokera ku kyoto awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya.#Kuv 29:38,39, Leev 2:1,2
18Era n'atta ente n'endiga ennume, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ku lw'abantu. Abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.#Leev 3:1,6; 9:4 19Naddira n'amasavu g'ente n'ag'omukira gw'endiga n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba; 20n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, n'abireeta awali ekyoto n'addira amasavu n'agookera ku kyoto.#Leev 3:5,9 21Alooni n'addira ebifuba n'ebisambi ebya ddyo n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama nga Musa bwe yalagira.#Kuv 29:24,26
22Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'akka ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiweebwayo olw'emirembe.#Kubal 6:23-27, Ma 21:5, Luk 24:50 23Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu, bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa; awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.#Kuv 29:43, Leev 9:4,6 24Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu; awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu, ne bavuunama amaaso gabwe okuwa Katonda ekitiibwa.#Balam 6:21, 1 Bassek 18:38,39, 1 Byom 21:26, Ezer 3:11

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 9: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi