Eby'Abaleevi 10
10
Ekibi kya Nadabu ne Abiku
1Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako eby'okwoteza, ne bawaayo omuliro omulala Mukama gw'ataalagira.#Kuv 28:1; 30:9, Kubal 3:4, 1 Byom 24:2 2Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge.#Leev 9:24, Kubal 16:35 3Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti, “Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti, ‘Naatukulizibwanga mu abo abampeereza era n'agulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Alooni ne yeesirikira.#Kuv 19:22, Is 49:3, Ez 20:41; 28:22
4Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri, kojja wa Alooni, n'abagamba nti, “Musembere, musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye mu Weema entukuvu, mugitwale ebweru w'olusiisira.”#Kuv 6:18,22 5Awo ne basembera, ne basitulira emirambo mu ngoye zaagyo ne bagitwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bwe yalagira. 6Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti, “Temutankuula nviiri zammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era Mukama aleme okusunguwalira ekibiina kyonna; naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya okwo Mukama kw'ayokezza.#Leev 13:45, Kubal 16:22,46, Yos 7:1, Ez 24:16,17 7Temufuluma mu mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa; kubanga amafuta ga Mukama ag'okutukuza gali ku mmwe.” Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.#Leev 8:30; 21:12
Amateeka agafuga bakabona
8Mukama n'agamba Alooni nti, 9“Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza kyonna, ggwe n'abaana bo, bwe munaabanga mugenda okuyingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu muleme okufa. Lino linaabanga etteeka eritalijjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna.#Ez 44:21 10Mwawulengamu ebya Katonda okuva ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu;#Ez 22:26; 44:23 11era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna ge nnabalagira nga mpita mu Musa.”#Nek 8:2,8, Yer 18:18, Mal 2:7
12Musa n'agamba Alooni ne batabani be abaasigalawo: Eriyazaali ne Isamaali nti, “Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, era nga tekizimbulukusiddwa, mukiriire ku mabbali g'ekyoto, kubanga kye kitukuvu ennyo;#Leev 6:16,17, Kubal 18:9,10 13era munaakiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo n'abaana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 14Naye ekifuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, n'ekisambi ekisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaabiriiranga mu kifo ekirala kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo byabaweebwa okuba omugabo gwammwe ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.#Kuv 29:26-28, Leev 7:31,34, Kubal 18:11 15Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era binaabanga bibyo, n'abaana bo, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna, nga Mukama bwe yalagira.”
16Awo Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti,#Leev 9:3,15 17“Lwaki temwaliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo ekitukuvu? Ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu maaso ga Mukama.#Leev 6:26,29 18Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; mwandikiriiridde mu watukuvu, nga bwe nnalagira.”#Leev 6:26,30 19Awo Alooni n'agamba Musa nti, “Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi, n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era onnenyezza olw'ebyo, kale singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?”#Leev 9:15,16, Yer 6:20; 14:12, Kos 9:4, Mal 1:10 20Kale Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira.
Attualmente Selezionati:
Eby'Abaleevi 10: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.