Eby'Abaleevi 23
23
Ebiseera ebitukuvu (23:1—25:55)
1Mukama n'agamba Musa nti, 2Embaga ennonde eza Mukama okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu ze zino.#Kuv 12:16, Kubal 10:3,10
Ssabbiiti
3Ennaku omukaaga zinaakolerwangako emirimu; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ey'okuwummula n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Olwo ye Ssabbiiti ya Mukama mu nnyumba zammwe zonna.#Kuv 20:9,10; 23:12; 31:15; 34:21, Ma 5:12-15
Embaga Ey'okuyitako
(Kubal 28:16-25)
4“Zino ze mbaga ennonde eza Mukama, okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo.#Kuv 23:14-16 5Mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, ye mbaga y'Okuyitako.”#Kuv 12:1,6, Kubal 28:16, Ma 16:1
Embaga ey'emigaati Egitazimbulukusiddwa
6“Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eri Mukama; munaagiriiranga ennaku musanvu.#Kuv 12:15; 34:18 7Ku lunaku olwolubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.#Kuv 12:16, Kubal 28:18-25 8Naye ennaku musanvu munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.”
9Mukama n'agamba Musa nti, 10“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, muleetanga ekinywa eky'ebibereberye eri kabona;#Kuv 32:16,19, Kubal 15:2,18, Ma 26:1-3 11naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, kiryoke kikkirizibwe.#Kuv 29:24 12Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema, ogutannaweza mwaka okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.#Leev 1:10 13N'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa, eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, okuba evvumbe eddungi; n'ekiweebwayo kyakwo eky'okunywa kinaabanga ekitundu kimu ekyokuna ekya ini eky'envinnyo.#Leev 2:14-16 14Temulyanga ku mugaati, wadde ku ŋaano ensiike, oba ey'ebirimba ebibisi, okutuusa nga mumaze okuleeta ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe; eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, mu nnyumba zammwe zonna.”
Embaga ey'Amakungula
(Kubal 28:26-31)
15“Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti gye muleteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.#Kuv 34:22, Ma 16:9 16Olunaku olw'ataano oluddirira Ssabbiiti ey'omusanvu munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.#Kubal 28:16, Ma 16:1 17Buli nnyumba eneereetanga emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa; ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama.#Kuv 23:16, Kubal 15:17-20 18Awamu n'emigaati egyo, munaaleetanga abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema, abatannaweza mwaka; ente ennume ento emu, n'endiga ennume bbiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Awamu n'ebyo munaaleeterangako ekiweebwayo kyakwo eky'obutta n'eby'okunywa byakwo. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 19Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento ennume bbiri ezitannaweza mwaka, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.#Leev 3:1; 4:23,28, Kubal 28:30 20Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi; binaabanga bitukuvu eri Mukama era binaabanga bya kabona.#Leev 7:31-34; 23:11, Kubal 18:12, Ma 18:4 21Era ku lunaku olwo munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna, mu mirembe gyammwe gyonna.”
22“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebyo ebiba bisigaddemu; munaabirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”#Leev 19:9,10, Ma 24:19
Embaga ey'Omwaka omuggya
(Kubal 29:1-6)
23Mukama n'agamba Musa nti, 24“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, n'okukuŋŋaana okutukuvu okunaalangirirwanga n'okufuuwa amakkondeere.#Kubal 10:2,10; 29:1 25Temulukolerangako mulimu gwonna; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.”
Olunaku olw'okutangirira ebibi
26Mukama n'agamba Musa nti, 27“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okutangiririrako; munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu ne mwebonereza nga musiiba; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.#Leev 16:29,30, Kubal 29:7,8 28Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo; kubanga lwe lunaku olw'okubatangiririrako mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. 29Omuntu yenna ateebonerezenga ng'asiiba, ku lunaku olwo, anaaboolebwanga mu bantu be. 30Era buli muntu anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo; n'amuboolanga n'aggyibwa mu bantu be. 31Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga. 32Lunaabanga gye muli Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako, nammwe muneebonerezanga nga musiiba, okuva akawungeezi ku lunaku olw'omwenda okutuusa akawungeezi ku lunaku oluddirira, munaakuumanga Ssabbiiti yammwe.”
Embaga ey'ensiisira
33Mukama n'agamba Musa nti, 34“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira eri Mukama okumala ennaku musanvu.#Kubal 29:12, Ma 16:13, Nek 8:14 35Ku lunaku olwolubereberye ku zo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna. 36Ku buli lumu ku nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; era ne ku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kwe kukuŋŋaana okukulu; temulukolerangako mulimu gwonna.”#Kubal 29:12-38, Nek 8:18, Yok 7:37
37“Ezo ze nnaku enkulu ez'embaga eza Mukama z'abalagidde. Munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu ne muwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, buli kimu ku lunaku lwakyo. 38Embaga ezo zeyongedde ku Ssabbiiti za Mukama eza bulijjo, era n'ebiweebwayo ebyo byeyongedde ku bya bulijjo bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”#Kubal 29:39
39“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuumanga embaga ya Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunnaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okw'okwewombeeka.#Kuv 23:16, Ma 16:13 40Era ku lunaku olwolubereberye munaatwalanga ebibala by'emiti egisinga obulungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti ag'ebikoola ebiziyivu, n'emiti egy'oku migga; munaasanyukiranga ennaku musanvu, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.#Ma 16:14,15, Nek 8:15-18 41Buli mwaka, mu mwezi ogw'omusanvu munaakuumanga embaga ya Mukama eno, okumala ennaku musanvu. Lino lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 42Abaisiraeri bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu, 43bazzukulu bammwe bonna balyoke bamanye nti bajjajjaabwe bwe baali bava mu nsi ey'e Misiri, nnababeezanga mu nsiisira: Nze Mukama Katonda wammwe.” 44Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga Mukama ze yalagira.
Attualmente Selezionati:
Eby'Abaleevi 23: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.