Eby'Abaleevi 22
22
Obutukuvu bw'Ebiweebwayo
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Gamba Alooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu abaana ba Isiraeri bye bawaayo gyendi; balemenga okuvumaganyisa erinnya lyange ettukuvu: Nze Mukama.#Kuv 28:38, Kubal 6:3; 18:32, Ma 15:19 3Bagambe nti, Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nga si mulongoofu, anaaboolebwanga mu maaso gange: Nze Mukama.#Leev 7:20 4Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni alwadde ebigenge oba enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa ng'alongooseddwa. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu bw'anaakomanga ku kintu ekifudde, oba ku musajja avuddemu amaanyi ag'ekisajja;#Leev 14:2; 15:2,13,16, Kubal 19:11,22 5oba bw'anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba bw'anaakomanga ku muntu yenna atali mulongoofu;#Leev 11:24,43; 15:7,19 6kabona oyo anaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mutukuvu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri gwe n'amazzi.#Leev 15:5-11 7Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo y'emmere ye.#Kubal 18:11,13 8Ennyama y'ensolo efudde yokka oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey'omu nsiko, tagiryangako okufuuka atali mulongoofu: Nze Mukama.#Leev 17:15 9Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga okwonoona, ne bafa olw'okubinyoomoola: Nze Mukama abatukuza.”#Kuv 28:43
10“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu, wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.#Kuv 29:33, Kubal 18:11 11Naye omuddu kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abazaaliddwa mu nnyumba ye, bo banaalyanga ku mmere ye. 12Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali mu lulyo lwa bakabona, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu. 13Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe; naye atali mu lulyo lwa bakabona taagiryengako.#Lub 38:11, Leev 10:14, Kubal 18:19 14Era omuntu atali mu lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, kale anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'agattako n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.#Leev 5:15,16 15Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama;#Leev 19:8, Kubal 18:32 16nga bakkiriza abatali mu lulyo lwa bakabona okubiryako, ne babaleetera omusango n'ekibonerezo: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
17Mukama n'agamba Musa nti, 18“Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti buli mu Isiraeri yenna, oba munnaggwanga ali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone kye eky'obweyamo oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama;#Kubal 15:14 19anaawangayo, ente ennume, oba endiga, oba embuzi eteriiko mulema, alyoke akkirizibwe.#Leev 1:3,10 20Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo; kubanga tekikkirizibwenga.#Ma 15:21; 17:1, Mal 1:8,14, Beb 9:14, 1 Peet 1:19 21Buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde: ente oba embuzi, eneebanga eteriiko bulema eryoke ekkirizibwe.#Leev 3:1,6; 7:16 22Enzibe y'amaaso, emmenyefu, ennema, eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ku kyoto.#Leev 21:18-20 23Ente oba endiga ento eriko ekintu kyonna ekikyamu ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekiweebwayo kye weeyagalidde, so ssi kugiwaayo ng'obweyamo. 24Eyabetentebwa, eyanyigibwa, eyayatika, oba eyasalibwako enjagi zaayo, eyo temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe. 25Ensolo ze muggye mu bannamawanga temuziwangayo eri Katonda wammwe ng'ekiweebwayo eky'okulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko obulema era tezikkirizibwenga.”#Kubal 15:15, Mal 1:14
26Mukama n'agamba Musa nti, 27“Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo eneekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.#Kuv 22:30 28Temuttanga ente oba endiga, n'omwana gwayo, byombi ku lunaku olumu.#Ma 22:6 29Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo nga mugoberera amateeka, mulyoke mukkirizibwe.#Leev 7:12, Am 4:5 30Eneeriibwanga ku lunaku olwo; temugirekangawo okutuusa enkya: Nze Mukama.”#Leev 7:15
31“Muneekuumanga ebiragiro byange, ne mubituukiriza: Nze Mukama.#Leev 19:37 32So temuvumaganyanga linnya lyange ettukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri bonna: Nze Mukama abatukuza,#Leev 10:3; 18:21; 20:8 33eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: Nze Mukama.”
Attualmente Selezionati:
Eby'Abaleevi 22: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.