Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 15

15
1Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 2“Mugambe abaana ba Isiraeri nti omusajja yenna bw'anaabanga n'enziku, nga si mulongoofu olw'enziku ye.#Leev 22:4, Kubal 5:2, 2 Sam 3:29 3Obutali bulongoofu bwe bunaabanga ng'atonnya oba ng'azibikidde olw'enziku ye. 4Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako era na buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 5Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.#Leev 11:25; 17:15 6N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 7N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; awandiddwako amalusu anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu. 10Na buli anaakomanga ku kintu omuziku ky'abadde atuddeko anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 11Na buli muziku gw'anaakomagako nga tanaabye ngalo, oyo akomeddwako anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 12Ekintu eky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga; na buli kintu ky'omuti ky'anaakomangako kinaayozebwanga mu mazzi.”#Leev 6:28; 11:32,33
13“Era omuziku yenna bw'anaawonanga, aneebaliranga ennaku musanvu okwetukuza; anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta n'alyoka aba omulongoofu.#Leev 14:9 14Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, n'ajja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona.#Leev 14:22,23 15Kabona anaagawangayo; erimu olw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.#Leev 14:30,31
16“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.#Ma 23:10,11 17Na buli kyambalo oba ddiba erinatonyebwangako amazzi ago kinaayozebwanga ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi. 18Era omusajja n'omukazi bwe banaamalanga okwegatta bananaabanga n'amazzi ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.#1 Sam 21:4
19“Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa ey'abakazi anaamalanga ennaku musanvu nga yeeyawudde, na buli anaamukomangako anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 20Na buli kintu ky'anaasulangako ne ky'anaatuulangako mu biro by'okweyawula kwe, binaabanga ebitali birongoofu.#Leev 15:4-10 21Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 23Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu kyonna ekirala ky'atuddeko, oyo akikomyeko anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 24Omusajja yenna bw'aneegattanga naye anaabeeranga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako nakyo kinaabeeranga ekitali kirongoofu.#Leev 18:19
25“Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga nga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.#Mat 9:20 26Buli kitanda ky'anaasulangako oba buli ky'anaatuulangako mu nnaku ezo binaabanga ebitali birongoofu. 27Na buli anaakomanga ku ebyo, anaabanga atali mulongoofu, anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Omukazi bw'anavaanga mu biro eby'okweyawula kwe okw'embeera y'abakazi, aneebaliranga ennaku musanvu n'alyoka aba omulongoofu.#Leev 15:13-15 29Awo ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 30Kabona anaawangayo, erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'obutali bulongoofu bwe.
31“Bwe mutyo bwe munaalabulanga abaana ba Isiraeri ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu n'okwonoonyesa Eweema yange eri wakati mu bo.”#Kubal 5:3; 19:13,20, Ez 5:11; 23:38
32Eryo ly'etteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amazzi g'obusajja, agamufuula atali mulongoofu; 33era ery'omukazi ali mu kweyawula okw'empisa y'abakazi, era n'eryoyo asula n'omukazi atali mulongoofu.

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 15: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi