Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 14

14
Etteeka ery'okutukuza abawonye ebigenge
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge anaaleetebwanga eri kabona ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe. 3Kabona anaafulumanga mu lusiisira n'amukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde y'ebigenge ewonye,#Mat 8:2,4, Luk 17:14 4kabona anaalangiriranga baleetere oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi ennongoofu ennamu bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu n'ezobu.#Kuv 12:22, Kubal 19:6, Beb 9:19 5Awo kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ezo mu kintu eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. 6Kabona anaddiranga ennyonyi ennamu, omuti omwerezi, olugoye olumyufu ne ezobu, byonna n'abinyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; 7awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale.#Leev 16:22, 2 Bassek 5:10,14, Beb 9:13 8N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu; oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.#Leev 11:25; 13:6 9Ku lunaku olw'omusanvu, nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ebirevu n'ebisige, era anaayozanga engoye ze n'anaaba omubiri, n'alyoka abeera omulongoofu.”
10“Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogw'omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya kimu eky'amafuta.#Kubal 15:4, Mat 8:4 11Ne kabona amulongoosa, anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 12Awo kabona anaddirangako ogumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya eky'amafuta, n'abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama;#Kuv 29:24, Leev 5:18; 6:6,7 13awo anattiranga omwana gw'endiga omulume mu kifo ekitukuvu mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo; kitukuvu nnyo.#Leev 1:11; 4:24; 7:6,7 14Awo kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo.#Kuv 29:20, Leev 8:23 15Ate kabona anaddiranga ku mafuta ag'omukibya n'agafuka mu kibatu ky'omukono gwe ogwa kkono, 16awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'agamansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama. 17Anaatoolanga ku mafuta agasigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'abisiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, okw'oyo agenda okulongoosebwa. 18N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama.#Leev 4:26; 14:10 19Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe, oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa; 20era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto. Bw'atyo Kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.”
21“Naye bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;#Leev 5:7; 14:12 22ne bukaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okubifuna; ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.#Leev 15:14-15; 12:8 23Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama.#Leev 14:10-12 24Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25Awo kabona anattanga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja, ebyoyo agenda okulongoosebwa.#Leev 14:14-18 26Awo kabona anaafukanga amafuta mu kibatu eky'omukono gwe ogwa kkono; 27n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama; 28kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe, n'agasiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'okumukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulongoosebwa. 29N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama. 30Anaawangayo akamu ku bukaamukuukulu oba erimu ku mayiba amato nga bw'anaabanga asobodde okufuna;#Leev 14:22 31Ejjiba erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama. 32Eryo lye tteeka ly'omugenge omwavu.”
33Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 34“Bwe mutuukanga mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba zammwe;#Lub 17:8, Ma 32:49 35awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti, ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’ 36Kabona nga tannaba kuyingira kulaba nnyumba, anaalagiranga okuggyamu ebintu byonna ebiri mu nnyumba, bireme okufuuka ebitali birongoofu; awo oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba. 37Kabona bw'anaalabanga ng'ebisenge birimu enjatika munda, oba amabala agakiragalalagala oba amamyufumyufu, nga gasensedde munda mu kisenge, 38awo kabona n'alyoka afuluma okuggalawo ennyumba okumala ennaku musanvu. 39Ku lunaku olw'omusanvu n'ayongera okukebera endwadde; era bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba; 40kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga; 41era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokose ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu; 42ne baddira amayinja amalala, ne bagazza mu kifo kya gali ge baggyeemu, n'ennoni endala ne bagisiiga ku bisenge bye nnyumba.”
43“Naye endwadde bw'eneekomangawo n'esaasaana mu nnyumba emaze okuggyibwamu amayinja n'okukolokotebwako ennoni, era n'okusiigibwako endala; 44kale kabona anaayingiranga n'akebera, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ennyumba eyo; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo, ng'ennyumba eyo si nnongoofu.#Leev 13:51 45Awo kabona anaayabyanga ennyumba yonna, amayinja gaayo, emiti, n'ennoni; byonna anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu. 46Naye buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera ky'eneebanga nga nzigale, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 47Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.”
48“Ennyumba bw'eneemalanga okusiigibwako ennoni, kabona n'ayingira n'akebera, n'alaba ng'endwadde tebunye ku nnyumba, kale anaalangiriranga ennyumba eyo nga nnongoofu, olwo ng'endwadde ewonye. 49Awo anaatwalanga ennyonyi bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu, n'ezobu olw'okulongoosa ennyumba.#Leev 14:4-6 50Awo anattanga emu ku nnyonyi mu kintu eky'ebbumba omuli amazzi agagiddwa mu nsulo ekulukuta. 51N'addira omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu, n'ennyonyi ennamu, byonna n'abinnyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu. 52Era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi agavudde mu nsulo ekulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu n'olugoye olumyufu; 53naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale, okuva mu kibuga; bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba n'eba ennongoofu.”#Leev 14:7,19,20
54Eryo lye tteeka erikwata ku ndwadde ey'ebigenge: eby'ekikakampa,#Leev 13:30 55eby'okukyambalo, n'eby'omunnyumba;#Leev 13:47; 14:34 56era ery'ekizimba n'okubutuka n'ery'embalabe erungudde,#Leev 13:2 57okwawulanga ekitali kirongoofu, n'ekirongoofu; eryo lye tteeka ly'ebigenge.#Leev 10:10,11, Ma 24:8

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 14: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi