Logo YouVersion
Icona Cerca

Yoswa 24

24
Yoswa ayogera n'abaana ba Isiraeri e Sekemu
1Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakulembeze be nnyumba z'ebika bya baana ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne bajja mu maaso ga Katonda.#Yos 23:2 2Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Fulaati, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli; ne basinzanga bakatonda abalala.#Lub 11:27-32; 31:30; 35:2 3Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.#Lub 12:1-6; 21:2,3, Bik 7:2-4 4Isaaka n'amuwa Yakobo ne Esawu; ne mpa Esawu Seyiri ensi ey'ensozi okuba eyiye; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri.#Lub 25:24-26; 36:8; 46:6, Ma 2:5 5Oluvannyuma nnentuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye n'akolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.#Kuv 3:10; 4:14; 7:3; 12:29,51 6Nenzigya bajjajjammwe e Misiri, ne baatuka ku nnyanja emyufu. Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi.#Kuv 14:2,9 7Bajjajjammwe ne bankoowoola nze Mukama mbayambe. Nnenteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Nnenteekawo ekkubo mu nnyanja, bajjajjammwe ne bayitawo, Abamisiri bwe baabawondera ne mbazikiririza mu nnyanja, ne mbasanyawo; era mwalaba na maaso gammwe bye nnakola mu Misiri; era mwamala ennaku nnyingi nnyo mu ddungu.#Kuv 14:10,20,27,28, Ma 2:7,14; 4:34; 29:2, Yos 5:6 8Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani; ne balwana nammwe, ne mbawa mwe okubawangula ne mutwala ensi yaabwe, ne mbazikiririza ddala mu maaso gammwe.#Kubal 21:21-35 9Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira,#Kubal 22:5, Ma 23:4, Balam 11:25, Mi 6:5 10naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate, bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwa Balaki.#Kubal 23:11,20; 24:1,10 11Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko, n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbabawa ne mubawangula.#Yos 3:17; 4:10-13; 6:1; 11:1-3 12Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, ne bagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.#Kuv 23:28, Ma 7:20, Zab 44:3 13Ne mbawa ensi gye mutakolerera n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; era ne mulya ne ku bibala by'ensuku ez'emizabbibu ne z'emizayituuni ze mutaasimba.’#Ma 6:10,11 14Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa; era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga Fulaati, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.#Ma 10:12, Yos 24:2,23, 1 Sam 12:24, Ez 20:7 15Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli; naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”#Kuv 23:24,32,33, Ma 13:7; 29:18, Yos 24:2, Balam 6:10, 1 Bassek 18:21, Ez 20:39 16Abantu ne baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala; 17kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati;#Kuv 20:2 18Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi; era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.” 19Yoswa n'agamba abantu nti, “Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe. 20Bwe munaamuvangako ne muweereza bakatonda abalala, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza, alibazikiriza, newakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”#Yos 23:15, 2 Byom 15:2, Ezer 8:22, Is 63:10; 65:11-12; 1:28, Yer 17:13, Yos 19:50 21Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda; naye tunaaweerezanga Mukama.” 22Yoswa n'agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”#Yos 24:15 23“Kale kaakano muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri.”#Yos 24:14, Balam 10:16, 1 Sam 7:3 24Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n'eddoboozi lye tunaaliwuliranga.” 25Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.#2 Bassek 11:17, 2 Byom 23:16
26Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali mu kifo ekitukuvu ekya Mukama.#Lub 12:6; 28:18; 35:4, Ma 31:24, Balam 9:6 27Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gyetuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye; kyerinaavanga libeera mujulirwa gyetuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.”#Lub 31:48,52, Yos 22:27,28,34 28Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.#Balam 2:6
29Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110).#Balam 2:7-9 30Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunasusera, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'olusozi Gaasi.#Yos 19:50 31Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri. 32Amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi (100), ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bw'abaana ba Yusufu.#Lub 33:19; 50:25, Kuv 13:19, Bik 7:16 33Eriyazaali mutabani wa Alooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finekaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efulayimu.#Yos 22:13

Attualmente Selezionati:

Yoswa 24: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi