Ekyabalamuzi Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kino kyogera ku byaliwo mu kiseera okuva ku kufa kwa Yoswa okutuuka ku kulondebwa kwa Samwiri ne Sawulo. Ekitabo kyonna kyali kimaze okuwandiikibwa mu biseera bya kabaka Dawudi, (1010-970 BC). Ekitabo Ekyabalamuzi kyawandiikibwa okulaga ebiva mu bantu okusereba mu by'okukkiriza Katonda. Abantu baali nga beetaaga omukulembeze omutuukirivu ayinza okubazza ku Katonda. Ekitabo kya Yoswa kiraga nga abaana ba Isiraeri bakyayagala okugoberera Katonda n'okukwata amateeka ge. Songa Ekyabalamuzi kiraga nti ne mu biseera bya Yoswa abantu bali batandise okujeema. Obujeemu buno bwagenda bukula era ne bweyongera mu biseera byonna eby'abalamuzi. Embeera mu Isiraeri yeragira bulungi mu bigambo ebiri mu ( Balam 2:16-23). Ekitabo kikomekereza nga kiraga nti Isiraeri yali emenye endagaano ne Katonda nga buli muntu akola ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.
Ebiri mu kitabo
I. Ekikolo ky'obutali bwesigwa bwa baana ba Isiraeri (1:1—3:6).
II. Abaana ba Isiraeri baddirira mu by'okukkiriza (3:7—16:31).
III. Abaana ba Isiraeri baseeseetukira ddala (17:1—21:25).
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi Ennyanjula: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.