Ekyabalamuzi 9
9
Abimereki
1Abimereki mutabani wa Yerubbaali n'agenda e Sekemu ku bukojjaabwe n'agamba ab'oluganda lwa nnyina bonna nti, 2“Mbeegayiridde, mwogere abantu bonna ab'e Sekemu nga bawulira; mubabuuze nti, ‘kiriwa ekisinga obulungi; batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu (70), okubafuganga oba omu okubafuganga?’ Era mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.”#Lub 29:14, Balam 8:30,31 3Ab'oluganda lwa nnyina ne boogera ebigambo ebyo byonna ku lulwe nga abantu be Sekemu bawulira; ne basalawo okugoberera Abimereki, kubanga baagamba nti, “Ye muganda waffe.”#Balam 9:18 4Ne bamuwa ebitundu ebya ffeeza nsanvu (70), bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abikozesa okupangisa abasajja abalalulalu ne bamugoberera.#Balam 8:33; 9:46, 2 Byom 13:7, Bik 17:5 5N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be ensanvu (70) batabani ba Yerubbaali ku jjinja limu, naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'awona; kubanga yeekweka.#Balam 6:24
6Abasajja bonna abe Sekemu n'ab'Ebesimillo ne bakuŋŋaana ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu.#Lub 35:4, Yos 24:26 7Awo bwe baakibuulira Yosamu, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mumpulire, mmwe abasajja ab'omu Sekemu nammwe Katonda alyoke abawulire.#Ma 11:29; 27:12, Yos 8:33, Yok 4:20 8Awo olwatuuka emiti negikuŋŋaana okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga; ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ggwe tufuge.’#Balam 8:22,23, 2 Bassek 14:9 9Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti, ‘N'andirese obugimu bwange mwe bayima okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu ku bwange, ne ŋŋenda okufuga emiti?’ 10Emiti ne gigamba omutiini nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ 11Naye omutiini ne gugigamba nti, ‘N'andirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okufuga emiti?’ 12Emiti ne gigamba omuzabbibu nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ 13Omuzabbibu ne gugigamba nti, ‘N'andirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n'abantu, ne ŋŋenda okufuga emiti?’#Zab 104:15, Nge 31:6,7, Mub 9:7 14Awo emiti gyonna ne giryoka gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ 15Omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Oba nga munanfukako amafuta okuba kabaka wammwe ddala, kale mujje mwewogome mukisiikirize kyange; naye oba nga si bwe kityo. Omuliro guve mu mweramannyo gwokye emivule gyonna egy'omu Lebanooni.’#Balam 9:20, 1 Bassek 4:33, 2 Bassek 14:9; 19:23, Zab 104:16, Is 2:13, Ez 19:14 16Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mubasasula olw'ebirungi byeyabakolera;#Balam 8:35 17kubanga kitange yabalwanirira, n'awaayo obulamu bwe, n'abawonya mu mukono gwa Midiyaani;#Balam 8:22 18naye mmwe leero mwefulidde ennyumba ya kitange era mwattira batabani be ensanvu (70) ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abantu ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;#Balam 8:31; 9:3,5,6 19kale oba nga musasudde Yerubbaali n'ennyumba ye eby'amazima n'eby'obutuukirivu, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe; 20naye oba nga si bwe kiri, kale omuliro guve mu Abimereki gwokye abantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro; era omuliro guve mu bantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro gwokye Abimereki.”#Balam 9:15,49,56,57 21Yosamu n'adduka n'agenda e Beeri n'abeera eyo, olw'okutya Abimereki muganda we.
22Abimereki n'amala emyaka esatu (3) nga y'afuga Isiraeri 23Katonda n'atuma omuzimu omubi okwawukanya Abimereki n'abasajja ab'omu Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne basalira Abimereki enkwe;#1 Sam 16:14; 18:10; 19:9, 1 Bassek 22:23 24Ekyo kyabaawo Abimereki n'abasajja abe Sekemu abaamuwagira okutta bagandabe, batabani ba Yerubbaali ensanvu (70), n'obukambwe balyoke basasulwe era omusaayi gwabwe gubeere ku Abimereki.#Balam 9:56, 1 Bassek 2:32, Es 9:25, Zab 7:16, Mat 23:35-36 25Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali; ne kibuulirwa Abimereki.
26Awo Gaali mutabani wa Ebedi n'ajja ne baganda be, nebagenda e Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne bamwesiga. 27Ne bagenda mu nnimiro, ne bakungula ezabbibu zaabwe, ne bazisogolamu omubisi, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki.#Balam 9:4,46 28Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti, “Abimereki y'ani? Lwaki ffe abe Sekemu tumuweereza? Ssi ye mutabani wa Yerubbaali? Yee abaffe Zebbuli omumyuka we ye ani? Munywerere ku Kamoli kitaawe wa Sekemu omukulu we kika kyaffe. Lwaki tuweereza Abimereki oyo? 29Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimereki! Nandigambye Abimereki nti, ‘Teekateeka eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ”#2 Sam 15:4 30Awo Zabbuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n'asunguwala nnyo. 31N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti, “Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu; bajeemesa abantu b'omu kibuga bakulwanyise. 32Kale nno, golokoka kiro, ggwe n'abantu abali naawe, muteegere mu nnimiro. 33Awo olunaatuuka ku makya enjuba nga kyejje eveeyo, onoogolokoka n'olumba ekibuga; awo Gaali na bali naye bwe banafuluma okulwana naawe, n'olyoka obakubira ddala nga bwosobola.”
34Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka kiro, ne bateega ekibuga Sekemu nga beeyawuddemu ebibinja bina. 35Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n'ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; Awo Abimereki n'abantu be yali nabo ne bava we baali baategedde. 36Awo Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zabbuli nti, “Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zabbuli n'amugamba nti, “Olaba kisiikirize ky'ensozi, kye kifaanana ng'abantu.”#Balam 9:25 37Gaali n'agamba nate nti, “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku mwera gw'abalaguzi.” 38Awo Zabbuli n'alyoka agamba Gaali nti, “Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wagamba nti, ‘Abimereki ye ani, ffe okumuweereza?’ Bano si be bantu be wanyooma? Kale nno kaakano fuluma olwane nabo.”#Balam 9:28,29 39Awo Gaali n'akulembera abasajja ab'omu Sekemu n'afuluma okulwana ne Abimereki. 40Abimereki n'amugoba, Gaali n'adduka, Abimereki n'amuwondera okutuuka ku mulyango ogwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa. 41Abimereki n'abeera mu Aluma; Zabbuli n'agobamu Gaali ne baganda be, baleme okubeeranga mu Sekemu. 42Ku lunaku olwaddirira, Abimereki naakitegeera nti abantu beetegeka okugenda mu nnimiro. 43Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro naalinda. Awo abantu bwe bafuluma mu kibuga n'abagolokokerako, n'abakuba. 44Abimereki n'ebibinja ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; ebibinja ebibiri ebirala ne bifubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba. 45Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; n'akikuba, n'atta abantu abaalimu; n'amenyamenya ekibuga, n'akiyiwamu omunnyo.#Ma 29:23, 2 Bassek 3:25
46Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eruberisi.#Balam 8:33; 9:4 47Ne babuulira Abimereki ng'abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bakuŋŋaanye. 48Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye ne balinnya ku lusozi Zalumoni; Abimereki n'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, naalikwata naalissa ku kibegabega kye, n'agamba abantu abaali naye nti, “mwanguwe mukole nga bwe nkoze.” 49Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimereki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi (1,000).#Balam 9:20
50Awo Abimereki n'agenda n'azingiza Sebezi, n'akiwamba. 51Mu kibuga omwo, mwalimu ekigo eky'amaanyi, awo abasajja n'abakazi bonna ab'omukibuga ne baddukira omwo ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo. 52Awo Abimereki n'alumba ekigo okukirwanyisa, n'asemberera oluggi lw'ekigo alwokye omuliro. 53Awo omukazi omu n'asuula olubengo ku mutwe gwa Abimereki n'agwasa.#2 Sam 11:21 54Awo n'ayanguwa n'ayita omulenzi eyakwatanga eby'okulwanyisa bye, n'amugamba nti, “Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti, ‘Omukazi ye yamutta.’ ” Omulenzi we n'amufumita, n'afa.#1 Sam 31:4 55Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu ewaabwe. 56Katonda bwatyo bweyawalana eggwanga ku Abimereki, olw'ekikolwa kyeyakola eky'okutta baganda be ensanvu (70).#Balam 9:24, Nge 5:22 57Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe ne Yosamu mutabani wa Yerubbaali ekikolimo kyeyabakolimira ne kituukirira.#Balam 9:20
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi 9: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: