Ekyabalamuzi 8
8
Abamidiyaani bawangulirwa ddala
1Abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watukola bw'otyo, n'ototuyita nga ogenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bayomba nnyo naye.#Balam 6:35; 7:24; 12:1, 2 Sam 19:41 2N'abaddamu nti, “Nze kye nkoze kitono nnyo bw'okigerageranya n'ekyammwe. Ezabbibu Efulayimu z'akungudde ng'addamu tezisinga ezo obungi Abiyezeeri z'akungudde? 3Katonda abawadde okuwangula n'okutta abalangira ababiri Ababamidiyaani, Olebu ne Zeebu; era nze nnandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankanya nammwe?” Bweyamala okwogera ebyo, obusungu bwabwe ne bukkakkana.#Balam 7:24,25, Nge 15:1 4Gidyoni n'atuuka ku Yoludaani, n'asomoka, ye n'abasajja bisatu (300) abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyagoberera. 5N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti, “Mbeegayiridde abasajja abali nange mubawe ku migaati, kubanga bakooye, era nkyawondera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.”#Lub 33:17, Zab 60:6 6Abalangira b'e Sukkosi ne boogera nti, “Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, tulyoke tuwe eggye lyo emigaati?”#1 Sam 25:11, 1 Bassek 20:11 7Gidyoni n'ayogera nti, “Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka mbakubisa amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.” 8Awo Gidyoni n'avaayo n'ayambuka e Penueri, n'abaayo n'abagamba ebigambo bye bimu; abasajja abe Penueri nabo ne bamuddamu nga abe Sukkosi bwe baddamu.#Lub 32:30,31 9N'agamba abasajja ab'omu Penueri nabo nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyamenya ekigo kino.”#1 Bassek 22:27,28
10Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe eryafikkawo abasajja omutwalo gumu n'ekitundu (15,000), kubanga abalwanyi abalala emitwalo kkumi n'ebiri (120,000) baali bafudde. 11Gidyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba n'e Yogubeka, n'azindukirizza eggye nga terimanyiridde.#Kubal 32:35,42 12Zeba ne Zalumunna bakabaka bombi abe Midiyaani ne badduka; n'abawondera; n'abawamba, egye lyonna ne litya nnyo. 13Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi bwe yali ava ku lutalo n'ayitira e Keresi. 14N'awamba omuvubuka ow'omu Sukkosi, n'amubuuza ebifa ku balangira ab'e Sukkosi; awo omuvubuka n'amuwandiikira amanya nsanvu mu musanvu (77), agabalangira n'abakadde baayo. 15Awo Gidyoni n'agenda eri ab'e Sukkosi n'abagamba nti, “Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti, ‘Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe tulyoke tuwe abasajja bo abakooye emigaati?’ ”#Balam 8:6 16N'addira amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo n'akuba abakadde ab'omu Sukkosi. 17N'agenda e Penueri n'amenyamenya ekigo kyayo, n'atta n'abasajja ab'omu kibuga. 18Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti, “Baali bafaanana nga ggwe, nga bali ng'abaana ba kabaka.” 19N'ayogera nti, “Baali baganda bange, abaana ba mmange; nga Mukama bw'ali omulamu, singa temwabatta nange sandibasse.”#Luus 3:13 20N'agamba Yeseri mutabani we omubereberye we nti, “Situka obatte.” Naye omuvubuka naatya n'atasowola kitala kye kubanga yali akyali muto. 21Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidyoni nti, “Ggwe situka otutte, kubanga ekikolwa ng'ekyo kikolwa omusajja muzira nga ggwe.” Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala amajolobera agaali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe.#Zab 83:11
22Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti, “Ggwe tufuge ne mutabani wo ne muzzukulu wo, kubanga otulokodde mu mukono gwa Abamidiyaani.” 23Gidyoni n'abagamba nti, “Nze sigenda kubafuga, so ne mutabani wange tagenda kubafuga; Mukama y'anaabafuganga.”#1 Sam 8:7; 10:19; 12:12 24Naye Gidyoni n'abagamba nti, “Mbasaba buli muntu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” Kubanga Abaisimaeri bayambalanga empeta eza zaabu mu matu gaabwe. 25Ne baddamu nti, “Tunaaziwa, si lwa mpaka.” Ne baalaawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga.#Kubal 31:50 26N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu (1,700) nga totaddeko majolebera n'ebyambalo eby'e fulungu bakabaka be Midiyaani bye baali bambadde ne mikuufu egyali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe. 27Gidyoni n'abikolamu ekifaananyi eky'ekkanzu n'abiteeka mu kibuga kye, Ofula; Isiraeri yenna ne bava ku katonda ne bagenda ne bakisinza, kino ne kifuukira Gidyoni n'ab'omu maka ge ekyambika.#Kuv 23:33; 34:15, Kuv 28:6-35, Ma 7:16, Balam 2:17; 17:5; 18:14,17, 1 Bassek 12:30 28Awo Midiyaani newangulwa abaana ba Isiraeri netaddamu kubeera kizibu gyebali. Ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40), okutuusa Gidyoni lwe yafa.#Balam 3:11
Okufa kwa Gidyoni
29Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'agenda mu nnyumba ye ye.#Balam 6:32 30Era Gidyoni yalina batabani be, be yazaala abaava mu ntumbwe ze nsanvu (70), kubanga yawasa abakazi bangi.#Balam 9:2,5 31N'omuzaana we eyali Sekemu naye n'amuzaalira omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Abimereki. 32Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'akaddiye bulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri.
33Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne baava ku Katonda ne basinza Baali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.#Kuv 34:15, Balam 2:19; 9:4,46 34Abaana ba Isiraeri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe, eyabawonya mu mukono gw'abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna;#Zab 78:11,42; 106:13,21 35so tebaalaga kusiima ba nnyumba ya Yerubbaali ye Gidyoni, olw'ebirungi byonna Gidyoni bye yakolera Isiraeri.#Balam 9:16-18
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi 8: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: