Ekyabalamuzi 10
10
Omulamuzi Tola
1Awo Abimereki bweyamala okufa, Tola mutabani wa Puwa muzzukulu wa Dodo, ow'omukika kya Isakaali n'agolokoka okulokola Isiraeri; yabeera nga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi. 2N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu (23), n'afa, ne bamuziika mu Samiri.
Omulamuzi Yayiri
3Oluvannyuma lwa Tola newaddawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri (22). 4Era yalina batabani be asatu (30), abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu (30), nabo baalina ebibuga asatu (30), bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi.#Ma 3:14, Balam 12:14 5Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni.
Abaana ba Isiraeri baweereza bakatonda abalala
6Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama, ne baweereza bakatonda abalala, Babaali, Asutaloosi, bakatonda be Busuuli, bakatonda be Sidoni, bakatonda ba Mowaabu, bakatonda ba Amoni, ne bakatonda b'Abafirisuuti; ne bava ku Mukama ne batamuweereza.#Balam 2:11,13, 1 Bassek 11:5,7,33, 2 Bassek 23:13 7Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mukono gw'Abafirisuuti n'ogw'Abamoni ne babafuga.#Balam 2:14 8Omwaka ogwo ne banyigiriza era ne bajooga abaana ba Isiraeri, ne baajoogera abaana ba Isiraeri emyaka kkumi na munaana (18), bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi. 9Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda, Benyamini n'ekika kya Efulayimu; abaana ba Isiraeri ne beeraliikirira nnyo. 10Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti, “Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe ne tuweereza Babaali.”#Balam 3:9 11Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti?#Kuv 14:30, Kubal 21:21-32, Balam 3:31 12Era Abasidoni, Abamaleki n'Abamoni bwe baabajooga, ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe.#Balam 2:16; 6:3 13Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala; kyennava nnema okubalokola nate.#Ma 32:15, Balam 10:6,7, Yer 2:13 14Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.”#Ma 32:37,38, 1 Bassek 18:27 15Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti, “Twayonoona; tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi, kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.” 16Ne beggyako bakatonda abalala be baweerezanga; Omwoyo gwa Mukama ne gumuluma olw'okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri.#Yos 24:23, Balam 2:18, Is 63:9
17Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa.#Balam 11:11,34 18Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti, “Ani anaakulembera olutalo okulwanyisa abaana ba Amoni? Oyo y'anaafuga Gireyaadi.”#Balam 11:5,6,8,11
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi 10: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: