Ekyabalamuzi 2
2
Malayika wa Mukama ayogera n'abaana ba Isiraeri e Bokimu
1Awo malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'agenda e Bokimu. N'ayogera nti, “Nnabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti, ‘sirimenya ndagaano yange gye nnalagaana nammwe,#Balam 6:7-10, Lub 17:7, Kuv 6:4, Ma 6:21-23; 31:16 2mmwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe;’ naye mmwe temuwulidde ddoboozi lyange, kiki ekibakozesa bwe mutyo?#Ma 7:2; 12:3 3Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe naye banaabanga ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne ba katonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.”#Kubal 33:55, Yos 23:13 4Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira abaana ba Isiraeri ebigambo ebyo, abantu ne batema emiranga ne bakaaba amaziga. 5Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu#2:5 Bokimu Mu Lwebbulaniya kitegeeza, “Abakaabi.”; ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama.
Okufa kwa Yoswa
6Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli omu mu butaka bwe yagabana.#Yos 24:28-31 7Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna Mukama gwe yakolera Isiraeri. 8Yoswa omwana wa Nuuni, omuddu wa Mukama, n'afa, nga awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110). 9Ne bamuziika mu butaka bwe e Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, mu bukiikakkono obw'olusozi Gaasi. 10Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Isiraeri.
Abaana ba Isiraeri balekayo okusinza Mukama
11Awo abaana ba Isiraeri ne bakola ekibi mu maaso ga Mukama ne baweereza Babaali;#Balam 3:7; 6:1; 10:6; 13:1 12Ne bava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.#Kuv 20:5, Ma 6:14; 31:16,29 13Ne baava ku Mukama ne baweereza Baali ne Asutaloosi,#Balam 10:6, 1 Sam 7:4, Zab 106:36 14Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'aleka abalabe babwe ababeetoolodde ne babawangula. Abaisiraeri nga tebakyasobola kwetaasa.#Leev 26:37, Yos 7:12,13, 1 Sam 12:9, 2 Bassek 17:20 15Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera, era nga Mukama bwe yabalayirira; ne beeraliikirira nnyo.#Leev 26:14-45, Ma 28:15-68, Am 9:4 16Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga,#Balam 3:9,15; 10:1,12; 13:5#1 Sam 12:11, Nek 9:27, Bik 13:20 17Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga tebaali beesigwa, bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; ne baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; naye bo tebaakola bwe batyo.#Kuv 34:15, Ma 9:12, Balam 8:33 18Buli Mukama lwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi oyo, n'abawonyanga abalabe baabwe ebbanga lyonna omulamuzi oyo lye yamalanga nga mulamu; kubanga Mukama yabakwatiranga ekisa olw'okusinda kwabwe olw'abo ababeeraliikirizanga.#Kuv 2:24; 6:5, Ma 32:36, Zab 106:45, Yer 18:8; 26:3 19Naye omulamuzi bwe yafanga, abantu baddanga mu bibi byabwe eby'edda nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe wadde okulekayo empisa zaabwe embi.#Balam 4:1; 8:33 20Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri; n'agamba nti, “eggwanga lino limenye endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, tebakyampulira;#Yos 23:16 21nange okuva leero sikyagobyemu mu nsi mawanga Yoswa ge yalekamu weyafiira,#Yos 23:13, Balam 2:3 22ndyoke ngezese Isiraeri nga mpita mu mawanga ago ndabe oba banaakwatanga amakkubo gange nga bajjajjaabwe bwe bakola oba tebagakwatanga.”#Ma 8:2,16; 13:3 23N'olw'ekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ag'omu nsi eyo, era teyaganya Yoswa kubawangula.
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi 2: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.