Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 17

17
1Temuwangayo ente newakubadde endiga eriko obulema oba akamogo konna okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe kubanga ekyo kya muzizo gy'ali.#Ma 15:21
Okutta omuntu asinza ba katonda abalala
2Bwe wanaalabikangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi asobezza endagaano,#Ma 13:6-11 3n'aweereza ba katonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba mmunnyeenye bye ssaalagira;#Ma 4:19, Yer 7:31 4bwe banaababuuliranga, ne mukiwulira, munaanyiikiranga okubuuliriza, era bwe kinaabanga eky'amazima, nga tekibuusibwabuusibwa, eky'omuzizo ekyo nga kikolebwa mu Isiraeri; 5Kale munaafulumyanga omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekibi ekyo ebweru w'ekibuga kyammwe ne mubakuba amayinja n'afa.#Yos 7:25 6Wabula olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu lw'anattibwanga; naye bw'anaabanga omujulirwa omu yekka tattibwenga.#Kubal 35:30, Ma 19:15, Yok 8:17, Beb 10:28 7Abajulirwa be banaasookanga okumukuba amayinja, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja okumutta; bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.#Leev 24:14, Ma 13:5,9
8Bwe wanaabangawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe, ng'egy'obussi, enkaayana z'ebintu, oba ebisago ebituusiddwa ku bantu, olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama ky'alyeroboza. 9Munaagendanga eri bakabona Abaleevi n'eri omulamuzi anaabangawo mu kiseera ekyo ne mubeebuuzaako, ne babalaga ensala y'omusango#Ma 19:17, 2 Byom 19:8, Ez 44:24 10Nammwe munaasalanga omusango nga bwe banaabalaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza. Muneegenderezanga okukolanga ebyo byonna bye banaabanga babalagidde. 11Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza ebyo byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja. 12Omuntu yenna anaajeemeranga ensala ya Kabona aweereza mu Maaso ga Mukama, oba omulamuzi, omuntu oyo anaafanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu Isiraeri.#Kubal 15:30, Ma 10:8, Kos 4:4 13Olwo abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya bujeemu.
Ebiragiro ebirikwata ku kabaka
14Bwe muliba nga mutuuse mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu; ne musalawo okussaawo kabaka okubafuga ng'amawanga gonna agabeetoolodde bwe gali;#1 Sam 8:5 15mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga.#1 Sam 10:24, Yer 30:21 16Kyokka kabaka tagezangako okwefunira embalaasi ennyingi wadde okuzzaayo abantu e Misiri alyoke yefunire embalaasi ennyingi; kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.#Kuv 13:17, Kubal 14:3,4, Ma 28:68, 1 Bassek 4:26; 10:28, Is 2:7, Kos 11:5 17So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza newakubadde zaabu ennyingi ennyo.#1 Bassek 10:14,21; 11:3,4 18Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi.#Ma 31:9,26, 2 Bassek 11:12; 22:8 19Anaabeeranga nakyo, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe; ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga:#Yos 1:8 20omutima gwe gulemenga okwegulumiriza ku ba Isiraeri banne, era alemenga okukyama okuva ku biragiro bino; olwo alyoke awangaale ennaku nnyingi ku bwakabaka bwe, ye n'abaana be, mu Isiraeri.#Ma 4:40; 5:32

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 17: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi