Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 16

16
Embaga ejjukirirwako Okuyitako
1Mwekuumanga omwezi gwa Abibu, ne mukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe, kubanga mu mwezi ogwo Mukama Katonda wammwe mweyabaggyira mu Misiri ekiro.#Kuv 12:2-20; 13:4 2Era olw'okuyitako, munattiranga Mukama Katonda wammwe ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuzaamu erinnya lye, onoottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.#Ma 12:5 3Ku mbaga eno temulyanga mmere nzimbulukuse okumala ennaku musanvu, naye munaalyanga emmere eteri nzimbulukuse, y'emmere ey'okunakuwala, kubanga mwava mu nsi y'e Misiri nga mwanguyirira. Munajjukiranga olunaku lwe mwaviiramu mu nsi ey'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwammwe. 4Mu nsi yammwe temubeerangamu alina ekizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu, era n'ennyama ey'ensolo ezitiddwa akawungeezi ku lunaku olwolubereberye tesulangawo okutuusa enkya. 5Tottiranga ensolo eziweebwayo olw'Okuyitako munda mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by'akuwa, 6naye munnazittiranga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza akawungeezi, enjuba ng'egwa, nga bwe kyali nga muva e Misiri. 7Era munaagyokyanga ne mugiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza; enkeera ne muddayo mu weema zammwe. 8Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna.
Embaga eyitibwa eya Ssabbiiti omusanvu
9“Munaabalanga Ssabbiiti musanvu okuva lwe munaatandikanga okukungula eŋŋaano mu nnimiro,#Kuv 23:16; 34:22, Leev 23:15 10ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Ssabbiiti Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.#Leev 23:16, Kubal 28:26, 1 Kol 16:2 11Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe ne bannamawanga ne bamulekwa ne bannamwandu abali wakati wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.#Ma 12:18 12Era mujjukiranga nga mwali baddu mu Misiri, era munaakwatanga ne mutuukiriza amateeka gano.”#Ma 15:15
Embaga ey'Ensiisira
13“Bwe munaabanga mumaze okutereka emmere yammwe ey'empeke n'eby'omu masogolero gammwe, munaakolanga embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu;#Kuv 23:16, Leev 23:34,39-42 14nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe.#Ma 16:11; 26:11 15Okumala ennaku musanvu, muneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wammwe mu kifo Mukama ky'alyeroboza, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bibala byammwe byonna ne mu mirimu gyammwe gyonna, era munaabanga n'essanyu jjereere.”
16“Abasajja bonna ab'omu ggwanga lyammwe, banajjanga okusinza Mukama Katonda wammwe emirundi esatu mu mwaka: ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulusiddwa, ku mbaga eya Ssabbiiti Omusanvu, ne ku mbaga ey'Ensiisira, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era tebajjenga mu maaso ga Mukama nga tebalina kye baleese.#Kuv 23:14-17 17Buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga Mukama Katonda we gw'amuwadde.”#Ma 12:15, Ez 46:5, 2 Kol 8:12
Abalamuzi
18“Munnassangawo abalamuzi n'abaami mu bibuga Mukama Katonda wammwe by'abawa ng'ebika byammwe bwe biri, era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.#Ma 1:16, 1 Byom 23:4, 2 Byom 19:5 19Temukyamyanga musango; temusalirizanga bantu; so temulyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.#Kuv 23:2,8, Leev 19:15, Ma 1:17; 24:17; 27:19, Am 5:12 20Bulijjo mubeerenga beesimbu era ba mazima, lwe muliba abalamu ne musikira ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa.”
21“Temwesimbiranga muti gwonna okuba ng'akabonero ka katonda Asera, ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wammwe;#Kuv 34:13, Balam 6:25, 1 Bassek 14:15; 16:33, 2 Bassek 13:6; 21:3, Is 17:8 22So temwesimbiranga mpagi ey'ejjinja eya katonda omulala yenna, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.”#Kuv 23:24, Yer 43:13

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 16: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi